TOP

Mukomye okusuulira abakozi abaana bammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 18th September 2019

Omukozi gw'olekera omwana lw'amuyigiriza emize gy'oneejjusa obulamu bwo bwonna

Muyambeokumutegekangaagendakusomerowebsite 703x422

Omuzadde ng'ategeka omwana we okugenda ku ssomero

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abazadde beefudde abakola ennyo ekivuddeko okusuulawo obuvunaanyizibwa bw’okulabirira abaana nga bano babalekera bakozi.

Abakugu bagamba nti, omuzadde asobola okukwataganya emirimu gye era n’atuukiriza n’obuvunaanyizibwa bwe awaka ng’akola bino.

  1. Mulabirire nga yeetegeka okugenda ku ssomero: Annet Namutebi, maama era musuubuzi agamba nti, kikola amakulu omuzadde bw’afaayo okulaba embeera omwana we gy’alimu nga tannagenda ku ssomero. Kino kimuyamba okumanya omwana we

Bw’azuukuse n’engeri gye yettanira eby’okusoma.

  1. Manya ensoma y’omwana wo: Ronald Balisanyuka, mukugu mu by’abaana agamba nti omuzadde osaanidde okeere otegeke omwana wo ng’agenda ku ssomero, era nga ne bw’aba akomyewo, faayo okumanya ky’ayizeeyo.

Kino kiraga omwana wo nti, ofaayo ku kusoma kwe era naye kimuwaliriza okwongeramu amaanyi asome bulungi akusanyuse.

 aama ngakulisaayo mutabani we ku ssomero ngamugwa mu kifuba Maama ng'akulisaayo mutabani we ku ssomero ng'amugwa mu kifuba

 

  1. Manya ebintu omwana wo byayagala ennyo.

Balisanyuka agamba nti omuzadde buli lwawa omwana we akadde amanya biki omwana byasinga okwagala era lwaki. Kino kiyamba omuzadde okutema empenda okulaba nti omwana kyayagala akikola burungi.

  1. Abaana bayigirize okukola emirimu awaka.

Lynette Apondi, naye mukugu mu by’abaana agamba nti okubeera n’omukozi awaka, tekigaana baana kukola era nga kino kisoboka.

Abazadde balina okukubiriza abaana bano okukola emirimu era bakimanye nti, be balina okukola kubanga omukozi abayambako buyambi.

Ekyo bwe bakimanya, bakola na maanyi, olwo ne bafuuka abaana abalungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...