TOP

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe ekipya Katonda abawanguze okusinga abaasooka

By Lilian Nalubega

Added 21st October 2019

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe ekipya mwe bagenda okukolera ebigezo n'asaba Katonda abawanguze okusinga abaabasooka

Joseph8webuse 703x422

Fr. Joseph Ssebayigga ng'awa omukisa mu kuggulawo ekizimbe ekipya abayizi ba P7 mwe bagenda okukolera ebibuuzo eby'akamalirizo

Bya Lilian Nalubega

Episcopal Viika w'e Ntebe, Fr. Joseph Ssebayigga awadde abayizi 84 amasakalamentu ku ssomero lya St. Joseph Girls Primary School e Nsambya n'asabira n'abaana abagenda okutuula ebigezo ebyekyomusanvu Katonda abawanguze.

 r sebayigga ngasabira abayizi ba 7 Fr. Ssebayigga ng'asabira abayizi ba P7

 

Mmisa ey'okusabira abayizi bano yatandise n'okuggulawo ekizimbe ekiggya ku ssomero lino era nga Fr. Ssebayigga yakiwadde omukisa abayizi abagenda okukoleramu ebigezo bateekewo likodi ey'okuyita okusinga emyaka egiyise.

Yagasseeko okuyingiza abalonde babiri mu kisibo kya Kristu, n’abatiza ssaako okusembeza abasooka n’okuwa konfirimansiyo ate n’omujiji.

 bayizi abaamalirizza omujiji Abayizi abaamalirizza omujiji

 

Mu kubuulira, Fr. Ssebayigga yakubirizza abayizi b'ekyomusanvu okukozesa ekiseera ekisigadde nga basoma n'okwekenneenya byonna ebibasomeseddwa kyokka nga era bawaayo obulamu bwabwe n'okusaba Katonda buli kiseera asobole okukyusa engeri gye babadde bakolamu ebigezo omulundi guno bayitire waggulu.

"Oba nga musobola okulya emmere emirundi egisoba mu ena olunaku ne Katonda mumwongere ku mirundi gye mumusaba. Nkimanyi ajja kubawulira era tayinza butabaanukula na kubawanguza olutalo luno lwe mulimu," Fr. Ssebayigga bwe yagambye n'abajjukiza nti ebinaava mu bigezo kwe kusasula kwabwe eri bakadde baabwe mw'ebyo bye babakoledde nga kw'otadde n'okusasula ebisale by'essomero.

 bayizi abaalondeddwa okukulembera bannaabwe Abayizi abaalondeddwa okukulembera bannaabwe

 

Abakulembeze b'abayizi baakyusizza obukulembeze era abajja ne balayizibwa okuba abakulembeze abalungi eri bannaabwe nga bano Ssebayigga yabakubirizza okwewala okutiiririra bayizi bannaabwe ekiyinza okubazza emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano