TOP

Abaana balabuddwa kumirimu egy'obulabe

By Christine Nakubulwa

Added 17th December 2019

Omubuulizi w'e Kabowa David Ssewagudde alabudde abaana abali mu luwummula obutakola buli mulimu kuba egimu si gya myaka gyabwe

Batobakuume5webuse 703x422

Omubuulizi Ssewagudde ng'ayogera eri abaana

Bya Lilian Nalubega

Abaana balabuddwa ku mirimu gye balina okukola mu biseera eby'oluwummula nti kubanga mingi gye bettanira ensangi zino gya bulabe eri obulamu bwabwe.

"Emirimu ng’okulonda ebyuma ebikadde ku byalo gye mubeera, ebicupa ebikozeseddwaako n'ebintu ng’ebyo bya bulabe eri obulamu bwammwe. Oluusi ebyuma bibeeramu bbomu nga zisobola okubakuba ne mufa ate nga n'ebimu biba bijama ekisusse nga bisobola okubalwaza ebirwadde ebiva ku bucaafu," Omubuulizi w’e Kabowa, David Ssewagudde bwe yalabudde bwe yabadde abuulira abaana aba Ssande School abeetabye mu kusaba ku kkanisa y'Omutukuvu Steven e Kabowa.

 bamu ku baana abaabadde mu unday chool e abowa Abamu ku baana abaabadde mu Sunday School e Kabowa

 

Ssewagudde yagambye nti, abaana bagwana kukuumibwa butiribiri mu biseera naddala bino eby'oluwummula era n'asaba abazadde okuba abasaale okukuuma abaana bano kubanga abamu n'emyaka gyabwe mito nga tebannasobola kwesalirawo na kwawula kibi ku kirungi.

Omusomesa wa Ssande School ku kkanisa eno, Theo Mukasa abazadde yabasabye bajjumbire enteekateeka z'obulabirizi basasulire era batwale abaana baabwe mu nkung’aana ezitegekebwa kkanisa.

Abaana baabuulirirwa ku mpisa ennungi era ne babuulirwa biki omwana omulungi by'afuna okuva eri abazadde abamuzaala ate n'abantu abalala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...