TOP

By'oba okola okukuza ekitone ky'omwana wo

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2020

Abakugu balaga engeri gy'ozuula n'okukuza ekitone ky'omwana wo nga bw'asoma

Lydianyesigomwengaayogerakonebamaamawebuse 703x422

Lydia Nyesigomwe ng'ayogera ne bamaama abamu ku kukuza ebitone by'abaana

Bya Stella Naigino

Abantu abamu naddala abazadde  bagayaalirira okukuza ebitone by’abaana baabwe nga beesiba ku ky’okulemesa abaana okusoma kyokka ng’abakugu bagamba nti, tekigaana mwanakukuza kitone kye wadde akyasoma.

Lydia Nyesigomwe, dayirekita wa Parenting Uganda agamba nti, ssinga bazadde be tebaakuza kitone kye baamulabamu, osanga teyandibadde w’ali kati.

Nyesigomwe agamba nti, kuva buto ng’ayagala abaana era nga ne ku kkanisa gye yasabiranga ye yakuliranga Ssande School.

Ayongerako nti, wadde abazadde be baamukuutira okusoma, naye era baamuyambanga okukola ebintu bye yali ayagala ebikwatagana n’ekitone kye.

Agamba nti, abo bonna abaali bamwagaliza okubeera obulungi baamuyambanga okulaba ng’akola ebintu ebikwatagana n’okubeera mu baana.

 ickie airwe ku kyalaani kye Vickie Hairwe ku kyalaani kye

 

Ng’amaze okusoma era yanoonya omulimu ogukwatagana n’abaana abato era ne bwe yakoowa okukozesebwa, yasalawo n’akola ekitongole kya Parenting Uganda kwe  yateeka essomero nga lya baana bato.

Nyesigomwe agamba nti, omuntu buli lw’akola ebintu ebyekuusa ku kitone kye, abikola bulungi era nga musanyufu.

Omuzadde alina okumalako obudde n’abaana be okumanya n’okuzuula ebitone byabwe era bamanye engeri entuufu ey’okubayamba.

Omuntu okukuza ekitone kirungi kubanga ebintu by’akola biyinza n’okumuyamba okufunamu ssente ne mu bukadde. 

Vickie Hairwe, atunga ngoye z’abagole agamba nti abantu abatuulira ebitone byabwe tebamanyi maanyi gali mu kukuza kitone.

Hairwe agamba nti, omuntu alina ekitone kye, teyeetaaga kumutuma kukola kintu kuvaayo wabula akikola bukozi n’olaba nga kinyumye era kivuddemu bulungi.

Omuntu alina ekitone akola ekintu kye n’okwagala era ne bw’asanga okusoomoozebwa, taggwaamu maanyi wabula yezzaamu amaanyi era n’afuna w’ayitira okutuuka gy’agenda.

Omuntu tasaanye kutuulira kitone kye wabula akikozese okufuna ebirungi by’ayagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi