TOP

Okufa kw’Omujulizi Kibuuka kwasattulula famire ye

By Musasi Wa

Added 27th May 2012

ABAAGEREESA nti omuzira taba na kitiibwa gye bamuzaala, baali batuufu anti n’abo ku kyalo okusibuka omujulizi Ambrozio Kibuuka, tebajjumbira kumusaba, kyokka ng’abalala bava e bunaayira buli mwaka okujja okweyoolerera ku mikisa ku kyalo kino.

2012 5largeimg227 may 2012 105952953 703x422

Bya KIZITO MUSOKE

ABAAGEREESA nti omuzira taba na kitiibwa gye bamuzaala, baali batuufu anti n’abo ku kyalo okusibuka omujulizi Ambrozio Kibuuka, tebajjumbira kumusaba, kyokka ng’abalala bava e bunaayira buli mwaka okujja okweyoolerera ku mikisa ku kyalo kino. 
 
Ambrozio Kibuuka y’omu ku bajulizi abattibwa e Namugongo ku kiragiro kya Ssekabaka Mwanga ng’abalanga okumujeemera ne batandika okusoma eddiini engwira, ezaali zireeteddwa Abazungu.
 
Yazaalibwa omwami Kisuule Katikamu Mulundaggana eyabeeranga ku kyalo Ttamu, mu ggombolola y’e Busimbi e Mityana, era nga muzzukulu wa Kasoma Nakatanza era nga yeddira Lugave.
 
Nnyina amuzaala ye Nampeera. Abantu bangi ku kyalo kino bw’obabuuza ku Ambrozio Kibuuka baddamu nti bamanyi kimu nti kwe bamuzaala kyokka nga tebajjumbira kugenda mu kereziya gye baazimba ku kyalo kino okusaba nga bayita mu ye. Omutuuze Paul Katamba agamba: 
 
Yadde ffe tetujjumbira kumusaba naye abantu bangi bava e bunaayira okujja ku kijaguzo kye ne bamusaba era ne bafuna bye basabye”. 
 
Okusinziira ku Migadde Mugandawasula, nga Kibuuka omujulizi aba amuyita jjajjaawe agamba nti , Kisuule jjajjaabwe yazaala omulenzi omu yekka n’abaana abawala abawerera ddala. 
 
Kibuuka okugenda mu Lubiri kitaawe omuto Kawuula Semindi ye yamuweerezaayo ng’agamba omwana bw’aneeyisa obulungi ye ajja kufuna obwami. 
 
Ambrozio Kibuuka yasigibwa mu Lubiri nga wa myaka 15, era omulimu gwe yatandikirako okukola gwali gwa kwoleza Kabaka ngoye, kyokka oluvannyuma yafuulibwa omugalagala. 
 
Ambrozio ng’ali ne banne baatandika okwebbirira mu Lubiri lwa Kabaka e Mmengo ne bagenda okusoma eddiini eyali yaakaleetebwa Abazungu.
 
Mwanga bwe yakimanya yabalabula nga bwe yali ajja okutta buli anaasoma eddiini engwira. Kigambibwa nti ku lunaku lwennyini kwe battira Balikudembe, Ambrozio ne banne kwe baabatizibwa, era ng’eyababatiza yali Mapeera nga November 15 ne 16, 1885.
 
Wabula kino tekyabaterebula okugenda mu maaso n’okusoma eddiini. Bwe baali bakyebbirira okusoma, Ambrozio ne banne baakwatibwa era ne basalirwa omusango gwa kwokebwa na muliro, era baayokebwa nga June 3, 1886 e Namugongo. 
 
Bino olwagwa kitaawe wa Ambrozio Kibuuka mu matu nti mutabani we attiddwa, yanyiigira nnyo muganda we, olw’okutwala mutabani we mu Lubiri n’afi irayo era yasalawo okusenguka ku kyalo, n’adda e Naama era ekisangibwa e Mityana. 
 
Wabula bwe yamala okufa omulambo gwe baagukomyawo ne baguziika ku kiggya ky’ekika mu Ttamu. Abatuuze ku kyalo kino wadde babadde bakimanyi okumala ebbanga nti Ambrozio Kibuuka asibuka ku kyalo kino, babadde tebaafayo kuteekawo wadde ekijjukizo.
 
Kyokka abagamba nti faaza Dennis Kyemwa bwe yakyala ku kyalo kino mu 2004, yasalawo abakristu batandike okulamaganga ku kyalo kino buli mwaka era kino kikolebwa buli June 17. 
 
Wano omutuuze omugenzi Sembuuze Sematiko we yaweerayo ettaka bazimbeko Eklezia eno ng’ekijjukizo kya Ambrozio Kibuuka, wadde nga ye yali Mukristaayo.

Okufa kw’Omujulizi Kibuuka kwasattulula famire ye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...