TOP

Obukodyo bannaddiini bwe bakozesa okugoba emizimu

By Musasi Wa

Added 8th February 2015

EKIMU ku bintu ebisinga okubonyaabonya abakkiriza mu ddiini ez’enjawulo gy’emizimu, abantu bangi balumbibwa emizimu ne gibakozesa ebintu eby’enjuwulo omuli okweyambula, okubasuula eddulu, okubakozesanga ne baba ng'abeegasse mu mukwano, okumeketa amannyo n’okwekola ebintu ebitasaana. Bannaddiini ba

2015 2largeimg208 feb 2015 162809923 703x422

Bya ANTHONY SSEMPEREZA NE MEDDIE MUSISI

EKIMU ku bintu ebisinga okubonyaabonya abakkiriza mu ddiini ez’enjawulo gy’emizimu, abantu bangi balumbibwa emizimu ne gibakozesa ebintu eby’enjuwulo omuli okweyambula, okubasuula eddulu, okubakozesanga ne baba ng'abeegasse mu mukwano, okumeketa amannyo n’okwekola ebintu ebitasaana. Bannaddiini bavuddyo ne boogera ku mizimu egiyigganya abantu.

MU BAKATOLIKITI:

Msgr. Charles Kimbowa agambye nti, "Kituufu emizimu weegiri era gibonyaabonya abantu. Mu Bayibuli tulaba Yezu ng'agoba emizimu, gye yasanga nga gibonyaabonya omuntu mu kibuga Yerusalemu n'agiboggolera era n'agisindika mu mbizzi ezaali awo okumpi era ne zidduka zonna ne zigwa mu nnyanja.


Abasaseredooti bonna bafuna obuyinza ewa Katonda okugoba emizimu mu bantu. Kyokka Klezia erina abasaser¬edooti berondayo n’ebawa obuyinza okugoba emizimu mu lujjudde.

Mu Klezia tulina abasaseredooti nga Msgr. Expen¬dito Magembe e Bukalango, Rev. Fr. Atanansio Musajjaakaawa e Bunnamwaya, Rev. Fr. Patrick Mubiru e Gombe. Rev. Fr. Dominic Mwebe e Nansana, Rev. Fr. Raymond ow’ekibiina kya ‘Mis¬sionary of the Poor’ e Mutundwe ne Rev. Fr. Jacinto Kibuuka e Bukalango, bano mu ssaza ekkulu erya Kampala be bavunaanyizib¬wa okugoba emizimu mu bantu n’ebifo ng’amasomero.

Abasaseredooti abalala nabo basobola okugoba emizimu, kyokka bo tebakikola mu lujjudde. Waliwo n'engeri Omukatoliki gy'asobola okugobamu emizimu.

Omukatoliki eyabatizibwa asobola okugoba emizimu bw'akozesa omusaalaba n'essappule era n’amazzi g’omukisa. Emizimu gwe gitawaanya funa omusaalaba oba ssappule ogyambale ate bw'oba ogenda okwebaka ogisse mu bulago oba emitwetwe n’omusaalaba.
Funa amazzi g’omukisa ogamansire mu kisenge kyo n’ekitanda kyo kyonna oluvannyuma okoowoole erinnya


lya Katonda nti, sitaani nkugoba mu linnya lya Yezu eno nga bw'okozesa omusaalaba okukuba akabonero nti, mu linnya lya Patri, n'omwana ne mwoyo mutuukirivu. Amiina emizimu gidduka. Ekirala ayambadde ssappule, omu¬daali oba omusaalaba kiba kizibu emizimu okumuyingiramu ne gimutawaanya okusinga oyo aba tabirina. Ssappule n’omusaalaba byakulwanyisa by’amaanyi nnyo mu kugoba sitaani."

ABALOKOLE BWE BAKOLA;

Omutume Dr. Joseph Sser¬wadda akulira ekibiina ekifuga abalokole mu ggwanga agambye nti, "Emizimu tegisobola kulumba mukkiriza era emizimu gituntuza batali bakkiriza. Nze emizimu gyantuntuza nga gisula gintuga, gindoosa ebirooto ebibi n’ebirala kyokka bwe nalokoka mu 1973 gy’emyaka egisoba mu 40 emizimu tegiddanga kuntuntuza.

Omuntu lw'akkiriza okulokoka n'akkiriza erinnya lya Yesu agob¬wako emizimu gyonna era omu¬kolo ogw'okumugobako emizimu gukolebwa oyo amuyingizza mu kukkiriza.
Emizimu gigaya, ginyooma era gipima oyo ayagala okugigoba noolwekyo okusobola okugoba emizimu kyetaaga amaanyi ag’enjawulo agasinga emizimu amaanyi. Tulina emitendera ena mwe tuyisa omuntu okusobola okugoba emizimu.

1 Ogusooka gwa kukkiriza erinnya lya Yesu.

2 Oguddako agoba emizimu afuuka omuyigirizwa wa Yesu.

3 Afuuka muweereza era ku mutendera guno omuntu asobo¬lera ddala okugoba emizimu. era n’ewuwe tegisobola kugendayo.

4 Guno omutendera omulo¬kole aba asobola okufufuggaza emizimu gyonna era n'ewuwe gityayo era bwe gimulaba gibuna emiwabo. Omuweereza buli lw’agamba emizimu nti, mbagoba mu linnya lya Yesu emizimu gira¬ba muliro nga gidduka. Omuweer¬eza y'asobola okugoba emizimu n'agikuumira gy'agigobedde ne gitadda.

ENKOLA MU BAKRISITAAYO;

Omulabirizi wa Mukono Williams Ssebaggala agambye nti, "Ekkanisa emanyi nti waliwo emizimu era erina abaawule abasobola okugigoba. Ekkanisa erina abantu abalina ebitone eby'enjawulo waliwo akola obu¬lungi mu bavubuka, ku baana, mu basomesa ne mu kulyowa emyoyo. Waliwo abasobola n’okugoba emizimu mu kkanisa. Wano mu Bulabirizi bw'e Mukono buli lwa Ssande tubeera n’okusaba kw'okuwonyezebwa mwe bagobera emizibu ku buli kkanisa ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo.

Tulina ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusabira abantu abatawaanyizibwa emizimu nga kikulirwa Canon James Batte. Omukrisitaayo kennyini asobola okweyamba n’atatwalibwa mizimu, nga yeesabira kennyini ate n'obutawakankula bintu bya mizimu ng'okugenda mu masabo

Akaloosa nako kakola - Sheikh Kirya

 Sheikh Hassan Kirya om­wogezi w’Obusiramu e Kibuli (mu katono) agam­bye nti, "Emizimu mu Busir­aamu gigobwa ne Kulaani. Okugoba emizimu ku muntu kika kya kujjanjaba ate si buli muntu nti, asobola okugoba emizimu okuggyako abo abalina 'yirimu' y’okugoba emizimu. Waliwo Basheikh aba­lina 'yirimu' y’okugoba emizimu ne sitaani.

Waliwo amateeka agafuga omuntu agoba emizimu n'ago agafuga gwe bagigobako. Singa oli mukazi nga y'agoba emizimu, ateekwa okwambala obulungi singa gimuvulunga mu ttaka tasobola kukunama.

 Ateekwa okuba n’owoluganda lwe ate gwe ba­kolako ateekwa okwetegereza oyo amujjanjaba okulaba nga ddala 'yirimu' agirina egoba emizimu.

Tunuulira ekifo w'ajjanjabira n’ebirala. Omuntu agoba emizimu ateekwa okuba ne 'yirimu' egoba emizimu kubanga bw'aba tagirina gimukosa oluusi n'oyo gwe bagigobako.

 Agoba emizimu alina okweko­lako olugo emizimu ne gitamuyin­giramu. Waliwo edduwa esomwa ku makya, olweggulo ne bw'oba ogenda okwebaka.

Waliwo edduwa esomwa Omu­siraamu egoba emizimu ng'agenze mu kifo ekipya. Waliwo n’edduwa egoba emizimu esomwa Omusir­amu bw'aba ayingira mu katale kubanga akatale kakuhhaanyizo lya buli muntu kyangu okubaayo emizimu. Waliwo edduwa egoba emizimu Omusiraamu gy'asoma ng’ayingira mu kaabuyonjo, kuban­ga emizimu gyewogoma nnyo mu bifo nga kaabuyonjo. Omusiraamu akubirizibwa okwekuba obuloosa n’okunyookeza obubaani bigoba emizimu.

 Emizimu giyingira gitya omuntu?

Singa okunkumula mu kisiiki­rize ky’omuti gikuyingira kubanga gyewogoma nnyo mu bisiikirize.

 Singa ofuuyisa mu bituli­tuli by'osanze gikuyingiramu kubanga gisula nnyo mu bituli. Okusambasamba ebintu ebiriirid­dwaako by'osanze mu kkubo. Bino bibaako emizimu egisobola okukuyingira.

Waliwo n'emizimu egimala gakuyingira ng'otambula ne giku­tomera ne gikuyingiramu. Kyokka bw'osangibwa ng'osomye edduwa ogiwona ne giyingira atasomye.

Waliwo emizimu emisindike ng'abantu be bagisindika ne giyingira mu balala.

 Waliwo emizimu egiyin­gira abantu nga giba gya kika gy'azaalwa. Emizimu gino gyonna gigobebwa okusinziira ku kika kyagyo ekiba kikuyingid­demu era n’amaanyi agakozeseb­wa okugigoba gasinziira ku kika kya muzimu. EDDIINI

 

Obukodyo bannaddiini bwe bakozesa okugoba emizimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...