TOP

Okwabya olumbe tekiriimu sitaani - Faaza

By Musasi Wa

Added 24th August 2015

OMUSOSODOOTI, Fr. Charles Gashiringi 'Lubega' ow'ekigo kya Our Lady Consolata e Bweyogerere asiimye obuwangwa bwa Buganda obw'okwabya ennyimbe n'agamba nti businga bungi mu nsi.

2015 8largeimg224 aug 2015 095946880 703x422

 Bya SILVANO KIBUUKA

OMUSOSODOOTI, Fr. Charles Gashiringi 'Lubega' ow'ekigo kya Our Lady Consolata e Bweyogerere asiimye obuwangwa bwa Buganda obw'okwabya ennyimbe n'agamba nti businga bungi mu nsi.

Bino yabyogedde ayigiriza mu kwabya olumbe lw'omugenzi Prossy Nantanda Bwatabwamu mu maka ge e Kireka.

Yagambye nti obuwangwa bwa Buganda buno buyamba okulaga ebikolwa ebirungi ebibadde ku mugenzi n'okusigala ng'akyajjukirwa.

"Ewaffe e Kenya kino tekiriiyo. Obuwangwa bwa Buganda bwa waggulu nnyo era nange nneetuumye erinnya lya Lubega ery'Engabi nsobole okwongera okubuyiga n'okumanya ennono. Emikolo gino tegiriimu bya sitaani,” Fr. Gashingiri bwe yategeezezza.

Yakubirizza abantu okwagala Katonda n'okweyisa obulungi, ebikolwa byabwe byongere okujjukirwa n'ajuliza Vanjiri ya Matayo 5:1-12 erimu obubaka nti 'Beesiimye ab'omutima omulongoofu kubanga be baliraba Katonda'.

Martha Bukulubwani Neema (14) ye yasikidde Nantanda, lubuga yabadde Nakkazi Nakamya. Bano Fr. Gashingiri yabakwasizza Bayibuli ne ssappule n'abakuutira okwagala Katonda ng'omugenzi bw'abadde.

Emikolo gy'okussaako omusika gyakulembeddwa alulira olunyiriri lwa Kugobera mu kika ky'Emmamba, Yakobo Kinaalwa. Bba w'omugenzi, Samuel Ssebina yeebazizza bonna abaakoze ku mikolo. Omugenzi yalese abaana basatu okuli Denis Kibalama, Diana Nakabugo ne Dorcus Nakigudde.

Okwabya olumbe tekiriimu sitaani - Faaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...

Vieira2 220x290

Edu awagira Vieira okutendeka Arsenal...

Abadde omutendesi wa Bayern Munich, Niko Kovac ayingidde olwokaano lw’abaagala okusikira Unai Emery, eyagobeddwa...

Joshuaruizjr 220x290

Anthony Joshua addamu kuzannyira...

Kyampiyoni w’ensi yonna ow’ebikonde mu buzito bwa babinywera ow’ekibiina kya WBA, Anthony Joshua akkirizza okuddamu...