TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • ‘Emmwaanyi bazikolere etteeka okutumbula omutindo’

‘Emmwaanyi bazikolere etteeka okutumbula omutindo’

By Benjamin Ssebaggala

Added 11th May 2016

‘Emmwaanyi bazikolere etteeka okutumbula omutindo’

Co1 703x422

Aba Tangaza University basiimye Nkandu akulira ekitongole kya NUCAFE

ABALIMI b’emmwaanyi mu ggwanga basabye gavumenti eyise etteeka eriwaliriza okwongera ku mutindo n’ebbeeyi y’emmwaanyi ze balima.

Joseph Nkandu, akulira National Union Of Coffee Agribusinesses and Farm Enterprises (NUCAFE) yasinzidde mu lukuhhaana lw’abaamawulire n’ategeeza nti obutabeera na tteeka dduhhamu kivuddeko abantu okutyoboola omutindo gw’emmwaanyi n’okunyigiriza abalimi ng’abazibagulako babawa obusente butono abamu ne bazigulira ku musiri.

Bino Nkandu yabyogedde ayanjulira abalimi engule gye yawangudde olw’obuvumu n’obumalirivu bw’ataddewo mu balimi b’emmwaanyi nga bayamba okugyongerako omutindo ne bagoba obwavu nga batunda emmwaanyi ensunsule mu kibiina kya NUCAFE omwegattira abalimi abawera okwetooloola eggwanga.

 gayogera ku ngule gye yawangudde Ng'ayogera ku ngule gye yawangudde

 Engule yamuweereddwa e Kenya ku Tangaza University nga bali wamu ne gavumenti ya Yitale ne bamwebaza okunyweza omumuli gw’ettendekero lya Eklezia.

Yasabye gavumenti nti mu bajeti gye bagenda okusoma, esaana erowooze nnyo ku ky’okuteekerawo abalimi b’emmwaanyi ensawo mwe basobola okwewola ssente ne batambuza emirimu kubanga nga abeegattira mu NUCAFE baatandikawo dda enkola, baterekera bammemba ssente.

Buli lwe batunda emmwaanyi ebweru w’eggwanga baggyako ekitundu kimu ku buli kikumi ku ssente ezivuddemu ne bazitereka mu UCDA.

Vincent Mulindwa, atuula ku lukiiko olufuga ekibiina yagambye nti mu kutetenkanya okungi mwe basinzidde okuzimba ekyuma ekinene e Nammanve basobole okusunsula emmwaanyi za bammemba bongere ku mutindo n’ennyingiza nga batunda kase.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....