TOP

Abasajja abafumbo basabiddwa ku kukuza abaana

By Deo Ganyana

Added 12th March 2019

ABASAJJA abafumbo bakubiriziddwa okukuliza abaana baabwe mu ddiini.

Nateete7 703x422

Aba Fathers Union oluvannyuma lw'okusaba mu kkanisa ya Makaayi e Nateete. Wakati ye Ven. Buwembo ate amuli ku kkono (mu kkanzu) ye Pulezidenti wa Ftahers Union Wilber Naigambi ate ku ddyo wa Ven. Buwembo ye Ssentongo ssentebe wa Fathers Union e Nateete.

Bya DEO GANNYANA

 

ABASAJJA abafumbo mu bussaabadinkoni bw'e Nateete mu bulabirizi bw'e Namirembe abeegattira mu kibiina kya Fathers' Union bakubiriziddwa okwerekereza byonna bakulize abaana baabwe mu ddiini kubanga ky’ekirabo ekisinga kye bayinza okubalekera.

 

Bino byayogeddwa Pulezidenti wa Fathers' Union mu Bulabirizi bw'e Namirembe Wilber Naigambi ku bugenyi bwe mu bussaabadinkoni bw'e Nateete ku Kkanisa ya Makaayi. Era yalambudde n'omulimu gw'okuzimba ekkanisa agalikwoleka n'awaayo emitwalo 50.

 

Naigambi yategeezezza nti ensangi zino waliwo abantu abakola ebikolobero ng’okutta bannaabwe, okukuba abakazi oba abasajja naye nga bino byonna biva mu butakuliza baana mu ddiini kubannga omuntu akulidde mu ddiini abeera n’omutima omusaasizi.

 

Ye Ssaabadinkoni w'e Nateete, Ven. Godffrey BK Buwembo yeebazizza abasajja abafumbo mu bussaabadinkoni bwe Nateete bulijjo okufunanga akadde ne basisinkana kubanga ensisinkano nga zino zivaamu ebibala ebirungi ebizimba eggwanga n’ekkanisa okutwaliza awamu .

 

Ate akulira abasajja abafumbo mu bussaabadinkoni bw'e Nateete, Benon Ssentongo yeebazizza banne bulijjo okufaayo okujjumbiranga emikolo nga gino kubanga abasajja gwe mutwe omukulu mu kukulaakulanya Ekkanisa.  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...