TOP

Biibino by'olina okukola ng'onookyaza ku mazuukira

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

Ebintu by'otolinakwerabira ng'otegekera abagenyi bo ku mazuukira gano

Bwobaojjulatekawoemeereefumbidwamungeriezenjawulobulimuntuafunekyalyawebuse 703x422

Abagenyi bo bategekere ebyokulya ebisikiriza

Bya Stella Naigino

Buli  mwaka Amazuukira gabeerawo era abantu abamu batambula ne famire zaabwe ne bakyalako era ng’ebiseera ebisinga abakyaza tebamanya kiki kye bayinza kwetaaga oba obuteetaaga.

Wabula ggwe asuubira abagenyi manya bino kubanga ojja kubyetaaga.

 nnyumba giyooyoote erabike bulungi Ennyumba giyooyoote erabike bulungi

 

Funa ebintu ebinene ebinaakuyamba mu kufumba

Brenda Luyiga, omukugu mu by’okutegekera abantu abangi agamba nti okukyaza kitegeeza abantu abo okulya n’okunywa nga kikwetaagisa ebikozesebwa ebimala.

Agamba nti, nga tonnatuuka ku lunaku olwo, gula ebintu ng’amaseffuliya, by’ogabuliramu ebyokulya, ebijiiko, amanda, obutam,baala obusiimuula n’obusitula n’ebintu ebirala obutakaluubirizibwa.

Fumba emmere ensiike n’eya boyiro

Olumu abagenyi bo bayinza okubeera nga balina ebintu bye batalya era okwewala kino olina kufumba mmere ya bika bya njawulo.

sobola okukozesa obuwoowo obuwunyisa obulungi ennyumba obutundibwa mu maduukaOsobola okukozesa obuwoowo obuwunyisa obulungi ennyumba obutundibwa mu maduuka.

 

Tereeza ebisenge byo

Olumu abantu bakyala nga baakusulawo ennaku ezisukka mu lumu. Kino kijja kukwetaagisa okulongoosa era oteeketeeke abagenyi we banaasula. Gulayo ebintu ng’amasuuka, emifaliso, ettawulo bye banaakozesa.

Beera n’enteekateeka ey’engeri abagenyi bo we banaasanyusibwa 

Florence Wagaba, agamba nti abantu ebiseera ebisinga bakyala nga bagenze kusanyuka ne bannaabwe era nga ggwe abakyazizza olina okuyiiya engeri gy’onoobasanyusa.

 bibala tebisaana kubulawo ngokyazizza abagenyi naddala ebisala omukkuto Ebibala tebisaana kubulawo ng'okyazizza abagenyi naddala ebisala omukkuto

 

Okutegeka obulungi, olina okumanya ki omugenyi akukyalira ky’anyumira olwo osobole okuteekayo ekyo kyennyini. Bw’aba ayagala okulaba firimu, gulayo z’olaba nga zinaamusanyusa.

Ebibala n’emmere eya langi esanyusa abagenyi

Ebibala birina omugaso munene era ng’omuntu tasaanye kubyerabira ng’ategekera abagenyi be ku mazuukira gano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...