TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Omusumba Kaggwa akukkulumidde bannabyabufuzi b’e Masaka olw'okubalemesa enkulaakulana

Omusumba Kaggwa akukkulumidde bannabyabufuzi b’e Masaka olw'okubalemesa enkulaakulana

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2019

Omusumba Kaggwa akukkulumidde bannabyabufuzi abava mu kitundu ky'e Masaka obutakikulaakulanya

Bishopkaggwangaalinabakulembezebabavubukamussazalyemasakawebuse 703x422

Omusumba JB Kaggwa n'abakulembeze b'abavubuka abaamukyalidde e Masaka

Bya Phiona Nanyomo

Akuuma entebe y’obusumba bw’Essaza ly’e Masaka, Omusumba John Baptist Kaggwa akukkulumidde abakulembeze mu kitundu kino olw’okwerowoozangako bokka ky’agambye nti kibalemesezza okufuna enkulaakulana ey’amaanyi.

Omusumba Kaggwa yabadde asisinkanye abavubuka b’Essaza ly’e Masaka nga bamwebaza ebirungi by’abakoledde ebbanga ly’amaze ng’abakulembera. Agamba nti, abakulembeze mu kitundu kino buli omu alowooza bubwe mu kifo ky'okulowooleza mu kukulaakulanya ekitundu era nga wano we yasinzidde n’asaba abavubuka okwenyigira mu bukulembeze bwa Klezia n'obw’eggwanga nga be bajja okuyambako okumalawo enkaayana zino.

Yasabye abavubuka okwettanira okulima nti kubanga emirimu gye baasomerera tegiriiyo nga enkumbi yokka y’ejja okubabbulula.

Abavubuka okugenda ew’omusumba baategeezezza nga bwe bamaze okubaga ekiwandiiko kye bagenda okukwasa Pulezidenti Museveni ng’azze ku mukolo ogw’okutuuza omusumba omuggya Msgr. Serverus Jjumba nga baagala abayambe basseewo ettendekero erigenda okubbulwamu omusumba Kaggwa olw'okumujjukira ebirungi by’akoze.

Rev. Fr. Deus Ssekabira, akulira abavubuka mu Ssaza ly’e Masaka yategeezezza omusumba nga bw’agezezzaako okugatta abavubuka bonna nga tasosodde mu ddiini era nga mu nsisinkano eno n’Abasiraamu baabaddemu.

Ssaabakristu w’Essaza ly’e Masaka, Dick Muwanga yeebazizza omusumba olw’obukulembeze bw’abawadde emyaka gyonna era n’asaba abavubuka okwenyigira mu bukulembeze bw’eggwanga n’Eklezia.

Abavubuka baatonedde Omusumba ebirabo eby'enjawulo nga ne Gen. David Muhoozi yatonedde Omusumba obukadde butaano ng’amusiima olw'okubakumaakuma ng’abakuumaddembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...