TOP

Dr.T akubye abalokole emiziki katono bamenye entebe

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2019

Dr.T olumaze okukuba abalokole emiziki n'asaba omukisa okuva ewa musumba munne Jeremiah Ssebakijje

Drt3webuse 703x422

Travis Kazibwe ng'ayimba n'abawagizi be

Bya Paul Kakande

Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr. T eyabadde anekedde mu kkooti emmyufu, yalinnye ku siteegi ku ssaawa 3:30 ez’ekiro n’atandika okukuba abantu omuziki gwa Yesu. Abantu olwamulabye ne basaanuuka mu kukuba emizira awo naye n’asumulula omuziki ogwasitudde buli eyabadde atudde mu katebe ne beerabira nti baabadde bali mu kkanisa.

Bino byabadde ku kkanisa ya World Answer’s Church International e Masajja B mu munisipaali y’e Makindye - Ssaabagabo bwe baabadde bajaguza emyaka 17 bukya ekkanisa eno etandikibwawo omusumba w’Abalokole Nabbi Jeremiah Sebakijje.

Dr. T yayimbye ennyimba ze zonna ezitendereza Mukama okuli: Mukama nkusaba mpa oluyimba n’endala era olwamalirizza n’agenda awaabadde musumba munne Nabbi Sebakijje n’afukamira okumusaba omukisa era Nabbi Sebakijje ne mukazi we bombi ne bamuwa omukisa.

 r  ngasaba omusumba sebakijje  omukisa oluvannyuma lwokuyimba Dr. T ng'asaba omusumba Sebakijje omukisa oluvannyuma lw'okuyimba

 

Ebikujjuko bino byabadde ku mulamwa ogugamba nti, “Toluubirira kitono yaayaanira ekisingawo”.

Omusumba Sebakijje mu kubuulira yagambye nti, obutagumiikiriza obulli mu bavubuka bwe bubaviiriddeko okubeera nga bafuna kitono mu bye bakola era babakubiriza okwewala okupapirira mu buli kye bakola.

Sebakijje yagambye nti, ensangi zino abavubuka tebaagala kukola naye kino n’akissa ku bazadde ababakuza obubi ng’agamba nti, engeri bo abazadde gye baakuzibwa ate bo si gye bakuzizzaamu abaana baabwe. “Abaana bammwe mubakotoggedde, emirimu bazadde bammwe gye babayigiriza ate mmwe temwagala kugiyigiriza baana bammwe”.

Sebakijje yakubirizza abalokole okukola ate n’okuyigiriza abaana baabwe emirimu gye bakola kubanga be balina okugisikira nga bafudde.

Ku mukolo guno kwetabyeko n’abayimbi b’abalokole abalala okuli Levixon, Exodus n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam