TOP

Abalokole bajaguza emyaka 25 egy'ekkanisa

By Musasi wa Bukedde

Added 14th August 2019

Omusumba Ssenfuma ajaguzza emyaka 25 egy'ekkanisa ye n'okuweebwa ekitiibwa ky'obwadokita n'awa obukodyo bw'okuwangula mu bulamu

Senfumanadwifewebuse 703x422

Pr. Ssenfuma ne mukyala we Favour mu lukiiko lwa bannamawulire

Bya Norah Mutesi                 

Ekkanisa y’Abalokole eya United Christian Center (UCC) e Kasubi egyaguzza emyaka 25 okuva lwe yatandika mu 1993.

Ng’ayogera ne bannamawulire ku kkanisa eno, omusumba Steven Ssenfuma agikulembera yagambye nti, kyamuwendo okulaba ng’ekkanisa egyaguza emyaka 25, kubanga Mukama gy’abaggye wala.

“Ebenezar, Mukama gy’atuggye wala, era ne gye tugenda wala,” Ssenfuma bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, emyaka 25 emabega ekifo ekkanisa kw’etudde kyayitibwanga mpuku y’ababbi, abatemu, n’okukwatirawo abakazi, naye leero kifo ekisinzibwamu.

Okwo yagasseeko nti, abantu abaakolanga ebyambyone kati baalokoka era tebakyabikola, wabula baweereza Mukama.

 r senfuma mu kyamblo kyobwadokita ekitiibwa ekyamuweebwa ead hristian niversity mu merika Pr Ssenfuma mu kyamblo ky'obwadokita ekitiibwa ekyamuweebwa Lead Impact University mu Amerika

 

Conard Sande, addukanya ekkanisa yagambye nti ye yali tasobola kusoma Bayibuli n’agimalako naye okuva lwe yeegatta ku UCC, asobola okugisoma okuva ku lubereberye okutuuka gy’esemba.

Wabula omusumba Ssenfuma yasabye Gavumenti okubakolera ku mwala oguli okumpi n’ekkanisa, kubanga gubawunyirira nga bali mu kusaba.

Yagasseeko nti, mu myaka 25 egiddako ekkanisa eruubirira okubuulira enjiri mu Uganda n’ebweru waayo.

Mu kujaguza kwe kumu, omusumba Ssenfuma kwe yagyagulizza amatikkira ge bwe yaweebwa obwadokita obutali busomerere mu ttendekero lya Lead Impact esangibwa mu Amerika.

 r senfuma ngawa abagoberezi be obukodyo bwokuwangula mu bulamu Pr. Ssenfuma ng'awa abagoberezi be obukodyo bw'okuwangula mu bulamu

 

Isaac Kituuka, eyakiikiridde cansala wa Lead Impact University yagambye nti obukkakkamu bwa Ssenfuma buleetedde abantu bangi okukyuka, era Ssenfuma bukya atandika okubuulira ekigambo, ye takikyusanga oba okukyongeramu.

Kituuka era yagasseeko nti, ebyo bye bimu ku bintu bye batunuulira ssinga omuntu baba banaamuwa ekitiibwa eky’obwadokita.

Ssenfuma yeebazizza mukyala we, Favour Ssenfuma olw’okumusumba obulungi n’okumuyamba okufuuka kyali leero.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye