TOP

Minisita Kibuule olulokose n’atandika okubuulira enjiri

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2019

Bannaddiini basabidde Kibuule afune abalongo abalala

Minisitaronaldkibuulengayogeraeriabakkirizabakereziyayastjudewalugaekatoogowebuse 703x422

Minisita Ronald Kibuule ng'ayogera eri abakkiriza ba Klezia ya St. Jude Waluga e Katoogo

Bya Joanita Nakatte

Minisita omubeezi ow'ensonga z’amazzi, Ssaalongo Ronald Kibuule yalangiridde mu butongole nga bwe yalokoka oluvannyuma lw'okufiirwa abalongo be abaagwa mu kidiba ekiwugirwamu mu maka ge gye buvuddeko.

Okwogera bino, yabadde akyaddeko mu masinzizo ag’enjawulo okwabadde ekkanisa n'emizikiti mu muluka gw'e Katoogo mu ggombolola y'e Nama, gye yabadde atutte obweyamo bwe yakola mu kampeyini z'okulonda ezaggwa.

Mu kwogera eri Abakristu mu Klezia ya St. Jude Waluga, Kibuule yagambye nti, abaana bwe baafa yakitegeera nti engeri yokka ey'okuddamu okubasisinkana kwongera kusemberera mutonzi, era nga kye kyamusikiriza okwenenya ebibi bye n’okwatula obulokozi.

“Ku myaka ebiri gye baalina, abaana bange baali nga bamalayika ate nga nze obutuukirivu bwange nange kennyini nnali mbutankana, kye nnava ndokoka mbafaanane”, bwe yagasseeko.

 saabakristu wa t ude aluga rene amubiru ngaliko byannyonnyola abakkiriza Ssaabakristu wa St. Jude Waluga, Irene Namubiru ng'aliko by'annyonnyola abakkiriza

 

Mu kkanisa z'Abalokole okuli World Christian Redemption Mission Church esangibwa e Ssamuka ne True Foundation Pentecostal Church e Katoogo, minisita yakubirizza abakkiriza okwenenyanga ewa Katonda, baleme kukoma kwenenyeza basumba baabwe.

“Kyewuunyisa nti, abantu bangi beenenyeza abasumba b'ensi, kyokka bwe batuuka mu kkooti ne beegaana emisango gye gimu gye baba bakkiriza ne beerabira nti, Mukama abalaba”, Kibuule bwe yagambye.

Yategeezezza aba kkwaaya z'abayimbi, obuteerabira nti obubaka bwabwe mu nnyimba nayo ebeera njiri esobola okuddaabulula omuntu, era  n'abagamba nti tebasaanye kwenyooma nga balowooza nti bakoma ku kya kusanyusa bakkiriza.

Yeebazizza Katonda olw'okumugonnomolako ezzadde ery'abalongo, n'agattako nti weewaawo era ye yasalawo okubatwala nti era kati ali mu ssaala za kumusaba amuwe abalala.

Bwanamukulu w'ekigo ky'e Namagunga, Fr. John Chrizestom Serwadda, abasumba b'Abalokole Pr. Matia Sessanga ne Pr. Joseph Mazige Kitiibwa baasabidde Kibuule Mukama asobole okumusonyiwa ebibi bye, obuwanguzi mu by’obufuzi, n'okuddamu okufuna abalongo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...