TOP

Abatassibwangako mikono mwewale ebikolwa by'obufumbo

By Lilian Nalubega

Added 30th September 2019

Omulabirizi wa Central Buganda, Michael Lubowa alabudde Abakristaayo abeesuulirayo ogwannaggamba obutayamba baana baabwe kumaliriza misomo nga bukyali kuba kibakosa mu bukulu

Lubowawebuse 703x422

Omulabirizi Lubowa ng'abuulira abakkiriza mu kusaba

Bya Lilian Nalubega

Omulabirizi wa Central Buganda, Michael Lubowa awabudde abantu abakuliridde nga tebassibwangako mikono okwewala ebikolwa eby'obufumbo nti kubanga bwe babyenyigiramu basanga obuzibu mu maaso.

Omulabirizi Lubowa yabadde assa emikono ku baana 87 mu kusaba okwabadde ku Maseruka C/U mu busumba bw'e Kibibi mu Bussaabadinkoni obw'e Kaggulwe mu Butambala.

 bamu ku baana abassiddwaako emikono ku kkanisa e aseruka Abamu ku baana abassiddwaako emikono ku kkanisa e Maseruka

 

Mu baateekeddwaako emikono mwabaddemu abakyala abakulu n'abasajja nga bano bakira omulabirizi abasoya ebibuuzo nga byonna byabadde byekuusa ku mbeera y'obufumbo bwabwe era nga bano bonna baamutegeezezza nga bwe batali bafumbo.

"Kino kidda eri mmwe abazadde okufaayo okuyamba abaana bammwe okubayingiza ekisibo kya Kristo ate n'okwongera okubamanyisa obulungi ebifa ku ddiini yaabwe. Buli mwana assibwako emikono aba alina okwekwata Bayibuli ng’eno y'engabo y'omugoberezi wa Kristo emulambika n'okumuteekateeka okuyingira obulamu obutaggwaawo," Omulabirizi Lubowa bwe yagambye.

Yakubirizza Abakristaayo okuba n'omutima ogwagala bantu bannaabwe, kye yagambye nti ky'ekisumuluzo ky'enkulaakulana era n'abanjulira enteekateeka y'obulabirizi okudduukirira abali mu bwetaavu eyatandikiddwawo nga yatuumiddwa 'Good Samaritan Project'.

 bakristaayo nga baaniriza mulabirizi ubowa e aseruka Abakristaayo nga baaniriza Omulabirizi Lubowa e Maseruka

 

"Enkwe ezibajjudde mulina okuzikomya n'ekyo kyonna ekitali kya mugaso ekiri mu mitima gyammwe mukyeggyemu. Ebyo tebireeta nkulaakulana," Omulabirizi Lubowa bwe yagambye n'ategeeza nti, nga Obulabirizi bataddewo abantu abagenda okukung’aanya ebintu okuva mu bantu ababirina ate babituuse eri abo ababyetaaga n'asaba abantu okumuwagira.

Okusaba kwetabiddwaamu abakulira obussaabadinkoni bw'e Kaggulwe n’omusumba w'obusumba bw'e Kibibi, Festus Mulindwa Kasujja, Bannabyabufuzi n'abantu abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.