TOP

Ab'e Ssimba bafunye kigo oluvannyuma lw'emyaka 39 nga bakisabye

By Lilian Nalubega

Added 5th October 2019

sabasumba atongozza ekigo ky'e Ssimba mu Butambala n'akubiriza abakristu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe kisobole okuyimirirawo ate nabo okukolerera Eggulu

Lwanga7webusenew 703x422

Ssaabasumba Cyprian Lwanga ng'awa Abakristu omukisa oluvannyuma lw'okutongoza ekigo ky'e Ssimba

Bya Lilian Nalubega 

Nnamungi w'omuntu yeeyiye ku Eklezia y'Abatukuvu bonna e Ssimba nga Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga agitongoza okuba ekigo.

"Awo nno mbakwasizza ekigo kino tusobole okugenda mu bwakabaka obw’omu Ggulu. Tukolaganire wamu ebyetaago byayo tubituukirize olw'obulungi bwaffe ffenna era tukokere wamu anti ‘Agali awamu…’, buli muntu atuukirize obuvunaanyizibwa bwe oba muyizi oba muzadde n'abalala," Ssaabasumba bwe yagambye mu kukitongoza.

 sabasumba ngasiiga omuzigo abaana abafunye konfirimansio Ssabasumba ng'asiiga omuzigo abaana abafunye konfirimansio

 

Yalangiridde ebisomesa ebigenda okutwalibwa ekigo kino okuli ekya Mabanda ne Kibibi ebisaliddwa ku kigo ky'e Ggombe ate n'ekya Kabuye, Lugala ne Makulungo nga byo byasaliddwa ku kigo ky'e Ggoli.

Yeebazizza ne Fr. John Bosco Masengere gwe yagambye nti atindigga eggendo ggwanvu okuva e Nnyenga  buli kadde ng’agenda e Kibibi ng’alafuubana okulaba ng’ekifo kino kituuka ku kkula lino.

Yakubidde omulanga abavunaanyizibwa ku butebenkevu mu ggwannga bakole butassa mukono okumalawo ekittabantu ekicaase ensangi zino. 

 baana nga basanyusa abaabadde ku mukolo Abaana nga basanyusa abaabadde ku mukolo

 

"Kyennyamiza okuba ng’abazza emisango gino bwe basalirwa ebibonerezo nga eky'okuttibwa ate bo beegayirira okusonyiyibwa baleme kuttibwa. Lwaki bo batta bannaabwe?" Ssaabasumba bwe yeebuuzizza n'agamba nti nga bwe batayagala kuttibwa nabo balumirirwe abalala.

Yabakubirizza okwagalana, okuba abagumiikiriza, abasaasizi ate era okulwana masajja olutalo lw'okukkiriza basobole okwebbulula mu kizikiza.

Bannaddiini okuva mu nzikiriza ez'enjawulo, bannabyabufuzi okuva mu disitiliki y'e Butambala n'ebitundu ebyetooloddewo abaana b'amasomero n'abantu ab'enzikiriza zonna beetabye ku mukolo guno.

Ssaabasumba yeebazizza Fr. Lawrence Mubiru atwala ekifo kino olw'amaanyi g'atadde ku mulimu guno.

 basiisita abaabaddewo Abasiisita abaabaddewo

 

Kino ky'ekigo ekyokusatu mu Butambala ng’ebirala kuliko; Ggombe ne Bulo.

Abantu yabakubirizza okukolerera eddembe mu maka gaabwe mu byobufuzi na mu buli mbeera kubanga bino Katonda by'atwagaza.

Kati emyaka 39 bukya Kalidinaali Emmanuel Nsubuga alangirira bwetaavu bw'ekifo kino okufuuka ekigo nga kyaddaaki kituukiridde.

Ssaabasumba yatenderezza amaanyi ga Fr. Mubiru agatuusizza n'abantu b'ekitundu kino okuva mu nzikiriza ez'enjawulo okweyuna essaala ze, ze bagamba nti zibawonya. Ssentebe wa LCV e Butambala, Bavekuno Mafumu yeebazizza Eklezia okutema empenda z'ekigo kino ekiggya nga zisalira ddala mu nsalo za disitulikiti ya Butambala, kye yagambye nti kyakugyongera ettutumu ate n'okumanyika amangu mu bantu. Bo ababaka abatwala ekitundu kino okwabadde Muwanga Kivumbi ne Lydia Mirembe beebazizza Ssaabasumba olw'okukkiriza n'ayanukula okusaba kw'abantu b'ekitundu kino era ne basuubiza nti eddiini ya kweyongera okunnyikira mu mitima gyabwe.

 saabasumba ngakwasa ogumu ku migogo gye yagasse mu kutongoza ekigo kino ebbaluwa Ssaabasumba ng'akwasa ogumu ku migogo gye yagasse mu kutongoza ekigo kino ebbaluwa

 

Abantu b'ekitundu basanyukidde okufuna ekigo

Richard Mubiru: Nasomera ku ssomero eryo nga tuliyita Simba CU nga Klezia ya mmuli n'ettaka kyokka kino ndaba ng’ekirooto nga kati tuli mu Klezia ya kigo ate eweesa ekitiibwa olw'obunene bwayo n'endabika. Katonda mulungi.

Jamil Mukwaya Lutaakome, Ssentebe wa LCIII e Kabasanda: Abantu bano bawonye okutindigga eng’endo!

Balikuddembe Mukasa: Tuli basanyufu, mmanyi bino bye bimu ku bibadde bigaana abantu okufuna amasaakalamentu n'abamu okunafuwa mu ddiini naye bwe banaalaba ku ba faaza mu kitundu n'abasiisita nga batambula abantu bajja kwekuba mu mitima, eddiini erina okudda mu bantu.

 bayizi ba ibibi basiraamu nga balamusa ku saabasumba wanga Abayizi ba Kibibi Abasiraamu nga balamusa ku Ssaabasumba Lwanga

 

Bamutenda Nsubuga, Ssentebe w'olukiiko olwategese: Tumaze okutuuka ku kiruubirirwa kyokka eno ntandikwa, tulina okuyimirizaawo ekigo kino nga kati Abakristu mbasaba kukola tuleme kudda mabega.

Ronald Muwanga, Ssentebe w'olukiiko oluzimbi: Tubadde tetulootangako nti, ekifo kino kirifuuka ekigo, newankubadde tubadde tuzimba kyokka tubadde tetulina ssuubi kyokka Katonda yatwanukudde Ssaabasumba n'akkiriza era akikoze!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.