TOP

Mwenenye mufune bye musaba

By Lilian Nalubega

Added 7th October 2019

Abakristaayo bakubiriziddwa okwekwata Katonda n'okwenenya olwo lwe banaafuna bye basaba

Mak1webuse 703x422

Abakristu nga batunda ettooke n'embuzi mu katale k'amakungula

Bya Lilian Nalubega 

Abakristaayo bakubiriziddwa okwekwata Katonda bamukkirize atuule mu bo bwe baba baagala abawe ebyetaago byabwe.

"Obugagga obw'ensibo Katonda abugaba ssinga naawe omwewa n'okola by'ayagala ate mu kiseera ekituufu. Tayiwa ate bw'akuwa kirungi okusigala nga tomulekulidde," bwatyo omusuubuzi Steven Kalanzi Katabaazi bwe yagambye.

Yabadde abuulira mu kusaba okwabaddemu n'okutongoza amakungula mu kkanisa y'omutukuvu Stephen e Kabowa ku Ssande.

 musuubuzi eyabuulidde Omusuubuzi Steven Kalanzi eyabuulidde mu kusaba

 

Yabuulidde abagoberezi ku kyatuuka ku Yona Katonda bwe yamulonda okugenda aweereze e Ninive kyokka ye n'asalawo okugenda e Talusiisi mu masanyu ekyamuvaako  abasuubuzi okumusuula mu nnyanja ekyennyanja ne kimumira.

Yayongeddeko nti, olw'okuba Yona yalina okukkiriza okwamutuusa ku kwenenya nga yaakatuuka mu lubuto lw'ekyennyanja era kyamutwala Katonda gye yali amutumye n'awona," bwatyo Katabaazi bwe yagambye.

Omusumba w'ekkanisa James Lukyamuzi ne Steven Katabaazi n'omubuulizi Nneekambuuza nga basabira Ying. Godfrey Kasajja eyasoose okugula ebintu mu katale k'amakungula

 

Yasabye abantu okuyiga okwenenya, okuwanga abantu ekitiibwa buli omu mu kiti kye, ate n'okuyiga okuddizanga Katonda naye asobole okubaddiza.

Amakungula ag'omwaka 2019/2020 gaatandise na maanyi ng’abantu nga bayita mu zooni zaabwe okuli Matayo, Lukka, Makko, Yokaana, Petero, Zooni y'ababeera ebweru wa Uganda n'eya Ssande School.

 yayimiriddewo ku lwababeera ebweru weggwanga ngasaba abantu okumudduukirira Omubuulizi mu kkanisa y'omutukuvu Stephen e Kabowa, Nneekambuuza eyakiikiridde aba Diaspora nga awanjagira abantu okumuwagira.

 

Abantu baawaddeyo okusooka amabaasa n'oluvannyuma ne batunda ebintu ebikalu ebyavuddemu obukadde obukunukkiriza 20 nga ku zino Katabaazi yasonzeeko obukadde butaano bwe yagulidde abantu bana ettooke n’enkoko buli omu.

Omusumba atwala ekkanisa eno, James Lukyamuzi yagambye nti zooni zaakuddamu ate zikungule mu bitundu byazo ng’eyo gye bajja okuva badde mu kkanisa okulangirira omuwanguzi anaatwala engabo y'omwaka. Yalabudde zooni ez'enjawulo obuteeyibaala nti, kubanga Abakristaayo baabwe abali ebweru batandise na maanyi nga bandibamegga ne basitukira mu ngabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.