TOP

Muyige obugumiikiriza lwe munaawangula mu bye mukola

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2019

Abakozi ba KCCA bakubiriziddwa okubeera abagumiikiriza ku m irimu gye bakola nga lwe banaayita mu kusoomoozebwa kwe basanga

4webuse 703x422

Rev. Can. Eric Kasirye ng'agabula abakkiriza keeki okujaguza emyaka esatu nga basinza wamu

Bya Prossy Nababinge

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) bakubiriziddwa bulijjo okwesiga Katonda n’okumunywererako wakati mu kusoomoozebwa kwe bakoleramu.

Bino bibagambiddwa Rev. Can. Eric Kasirye okuva mu bussaabadinkoni bw’e Luteete mu Bulabirizi bw’e Luwero mu kusinza okwategekeddwa awatuula enkiiko za Meeya wa Kampala Central.

 bamu ku baabaddewo mu kusaba kwokwebaza nga bali ne ev an ric asirye Abamu ku baabaddewo mu kusaba kw'okwebaza nga bali ne Rev. Can. Eric Kasirye

 

Abasibiridde entanda mu kitabo ky’Abafiripi 4:11 era n’abeebaza okubeera abagumiikiriza basobole okuwangula mu bye bakola  nga kw’otadde n’okubakulisa okuweza emyaka esatu nga bakung’aana mu kusinza okubeerawo buli Lwakusatu olusooka mu mwezi.

Oluvannyuma baasaze keeki y'obuwanguzi era ng'okusaba kuno kwetabiddwaako abakozi mu kitongole kino ku madaala ag’enjawulo nabo abeebaziza Can. Kasirye okubaliisanga ekigambo ekibazzaamu amaanyi ne basobola okutambuza obulungi obulamu bwabwe naddala ku mirimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja