TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obutabanguko mu maka bwongedde ku butali butebenkevu mu ggwanga

Obutabanguko mu maka bwongedde ku butali butebenkevu mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2019

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka gaabwe okutaasa eggwanga obutali butebenkevu bwe yagambye nti kati buva ku butabanguko mu maka

Ssekamanya00webuse 703x422

Abakristu nga batona mu mmisa eyayimbiddwa Omusumba Ssekamaanya

Bya Madinah Sebyala

Omusumba w'e Lugazi eyawummula, Dr. Mathias Ssekamaanya akubirizza abafumbo mu ggwanga okusala amagezi balabe nga bamalawo obutabanguko mu maka bw’agamba nti, bwongedde ku butali butebenkevu mu ggwanga.

Yagambye nti, mu kiseera kino obutabanguko bweyongedde naddala mu kiseera kino abakyala nga be basinga ssente n'agamba nti, mu kifo kya buli omu okusalira munne omusango wasaanye wabeewo olutuula ku njuyi zombi bafuneyo olunaku lw'okukubaganya ebirowozo ku butya bwe banaatwala mu maaso amaka gaabwe mu kifo kya buli omu okunenya munne ku bibeera tebigenze bulungi kubanga  bwe wabaawo ekisobye famire yonna ekwatibwako.

Yabadde ku Klezia ya St. Balikuddembe - Kiwanga gye yayimbye mmisa n’awa abaana 127 konfirimansiyo n'okwebaza Katonda olw’ekifo kino okujaguza omwaka mulamba bukya kifuuka ekigo.

 musumba sekamaanya ngasabira bakristu nabasosodooti abalala abaamuyambyeko Omusumba Ssekamaanya  n'abasosodooti abalala abaamuyambyeko nga basabira Abakristu 

 

Omusumba era yennyamidde omuwendo gw’abaami okubeera omutono ku bakyala abettanira Klezia n'emirimu gyayo n'abasaba bakyuseemu kubanga Katonda kino ky’ekiseera ky’asinga okubeetaaga kyokka n'asaba Abakristu okwongera okuyonja emitima gyabwe, obuyonjo buleme kukoma ku nyambala wabula butuuke ne mu mitima nga baagaliza, okusonyiwagana n'okwewala okugenda mu masabo naddala ng’abaana balwadde.

''Mukomye okuyimba oluyimba lw'okutereeza amaka nga temufuddeeyo buli omu kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe. Mufuneyo olunaku mu mwezi mutuule mukubaganye ebirowoozo ku butya bwe munaatwala amaka gammwe mu maaso ate mukomye buli omu okunenya munne,'' Omusumba Ssekamaanya bwe yakubirizza abafumbo.

Ku mukolo gwe gumu kwe yategeerezza ku nsonga za Gavumenti okusomesa abayizi okuva ku kibiina ekyokusatu ebikwata ku kwegatta kye yagambye nti, nga bannaddiini baakirwanyisa ne bawandiikira minisitule y'ebyenjigiriza nga bwe batagenda kukkiriza nteekateeka eno nabo ne babawuliriza era balinze kubayita babawe endowooza yaabwe n'oluvannyuma basalewo ekiddako.

 musumba sekamaanya ngawa abaana essaakalamentu lya konfirimansiyo Omusumba Ssekamaanya ng'asembeza abaana abaafunye essaakalamentu lya konfirimansiyo

 

Yavumiridde enteekateeka eno nga bwe bagenda okugirwanyisa kubanga eteeka abaana abato mu buzibu nga ssinga basomesebwa essomo ly'okwegadanga nga bato kijja kubawaliriza okumanya kye basomesaako ekiyinza okubateeka mu buzibu.  Ssaabakristu Charles Balala yagambye nti, beebaza Katonda okuweza omwaka bukya bafuna ekigo n'agamba nti balina bingi bye batuuseeko naddala okuzimba ennyumba ya bafaaza nga yeetaaga obukadde 120 esobole okumalirizibwa.

Yagasseeko nti, omusumba Ssekamaanya bamutendereza okubeera faaza ow'enkulaakulana bwe yabalagira okufulumya amakooko ge baali batuulako ng’entebe mu Klezia nabo kye baakola nga kati basobodde okuzimba Klezia ennungi omujjudde entebe ez'omulembe n'asaba Katonda amukuume.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...