TOP

Okusiigibwa amafuta si kulongoosa mubiri wabula n'omutima

By Lilian Nalubega

Added 23rd December 2019

Abakristaayo bakubiriziddwa okulongoosa emitima gyabwe batumbula obwakatonda mu byonna bye bakola

Omusumbahenrylukyamuziowaststevenekabowangaasiigaabagobereziamafutaekiro1webuse 703x422

Omusumba Henry Lukyamuzi ng'asiiga abamu ku bazze mu kkanisa amafuta

Bya Lilian Nalubega

Abakristaayo mu kkanisa y'omutukuvu Steven e Kabowa basiigiddwa amafuta okulongoosa emibiri gyabwe balindirire okwaniriza Kristo ku mazaalibwa ge nga basaanidde.

Omusumba w'ekkanisa eno, Henry Lukyamuzi ye yakoze omukolo guno mu kusaba okw'akawungeezi n'agamba nti, Abakristaayo balina okwerongoosa okuviira ddala ku mibiri gyabwe n'emitima bwe baba baakwaniriza omwana mu kitiibwa.

"Amafuta si kwesiiga kunyereketa oba kutukula n'okulabika obulungi wabula kabonero ak’oku ngulu akooleka obumalirivu bw'oyo agasiigiddwa okukyuka afuuke omuntu omulungi eyeesiga Katonda we era akola ebituukiridde," Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye.

 bamu ku baana nabantu abaabadde mu kusaba ne basiigibwa amafuta Abamu ku baana n'abantu abakulu abaabadde mu kusaba ne basiigibwa amafuta

 

Abakristaayo bangi omwabadde abaana n'abantu abakulu baasiigiddwa amafuta era nga omubuulizi Ernest Nekambuuza eyabadde omubuulizi w'olunaku abantu yabakubirizza okuva mu nsenyi basomoke emigga olwo babeere abantu abasaanidde eri Katonda.

"Ensenyi si bifo bye mumanyi ebitaliimu mazzi era ebijjudde omusenyu wabula by'ebikolwa ebitali bya bwakatonda ebibambadde nammwe bye mwenyigiramu okukola nga bino musaana okubireka.

Omuntu alina Katonda emize egy'obulogo, okweraguza, obubbi okukuba abakazi n'okuyisa obubi abalala taba nagyo," Nekambuuza bwe yagambye.

Yasabye abakkiriza nti, nga baaniriza Kristo bavvuunuke ensenyi enkalu Katonda ajja kubatemera ekkubo mu mugga  olwo bavvuunuke obuzibu bwe bayitamu obubakoza ebitagwanidde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi