TOP

Mutuukirize obweyamo bwe mukola

By Lilian Nalubega

Added 7th January 2020

Abakristaayo bakubiriziddwa okutuukiriza obweyamo bwe bakola nga ne Katonda lw'anaabaanukula

Bweyamo1webuse 703x422

Omusumba Lukyamuzi ng'ayigiriza ku Ssande ku kkanisa ya St. Steven Kabowa

Bya Lilian Nalubega

Omusumba w'ekkanisa y'omutukuvu Steven e Kabowa, Henry Lukyamuzi abuuliridde Abakristaayo ku bweyamo bwe bakola ne Katonda waabwe nti, balina okukakasa nti baakubutuukiriza ng’omwaka tegunnaggwaako.

 bbaluwa okuli obweyamo Ebbaluwa okuli obweyamo

 

Omusumba Lukyamuzi bwe yabadde abuulira mu kusaba ku Ssande yagambye nti, omwaka ke gutandise buli muntu asaana yeekebere yekkaanye n'omutima gwe ku ekyo ky'asobola ky'aba yeeyama mu kkanisa nga kino kitambulira ku nnamba ye ey'obweyamo buli Ssande.

"Omwaka bwe guggwaako omuntu oddamu buto okweyama eri Katonda wo, kyokka mulina okuyiga engeri ey'okumusikirizaamu naye asobole okubawa bye mwagala," Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye. Yategeezezza nti, ng’oyagala Katonda akukolere olina okumulaga engeri gy'oggya naawe okumuddizaamu.

"Abantu mumanyi okweyama kyokka ne mutatuukiriza eri Katonda, ogwo guba musango kyokka era kyewuunyisa abantu abamu okuva lwe yafuna nnamba y'obweyamo emyaka ena emabega n'atandika okweyama omuwendo gwe yatandikirako buli mwaka gw'addamu okweyama. Kye mugamba Katonda tabakolera kusinga we mwatandikira?" Lukyamuzi bwe yababuuzizza.

 kwaaya ngetendereza mu kusaba ku sande Kkwaaya ng'etendereza mu kusaba ku Ssande

 

Abakristaayo baaweereddwa foomu okujjuzaamu obweyamo bwabwe nga zino ze zigenda okujjuzibwa ku bukonge bwabwe era ng’ensimbi ezikung’aanyizibwa ziba za kutambuza mulimu gwa Katonda mu kkanisa ya Uganda.

Omusumba Lukyamuzi n'omukyala baasiibudde abagoberezi nga bagenda mu ggwanga lya South Afrika okwongera okunnyikiza obuweereza bwabwe ate nga mu kiseera kye kimu n'omubuulizi w'ekkanisa eno, Earnest Nekambuuza n'omukyala bagenda mu Kenya okwongera okusomesebwa bazze buggya obuweereza bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi