TOP

Mukomye okuwankawanka munyweze kye mulina

By Lilian Nalubega

Added 7th January 2020

Abakristaayo bakubiriziddwa okwewala okuwankawanka nga banoonya obugagga

Temuta6webuseuse 703x422

Rev. Festus Kasujja ng'abuulira mu kusaba

Bya Lilian Nalubega 

Omusumba w'e Kibibi, Rev. Festus Kasujja akalaatidde Abakristaayo okunyweza bye balina baleme kuwankawanka n'ebyo bye balaba nga si byabwe.

 agugube nga yeebaza abakulembedde okusaba nabamu ku bafamire ye Kagugube nga yeebaza abakulembedde okusaba n'abamu ku bafamire ye

 

Omusumba yabadde mu kusaba okwenjawulo okwabadde mu maka ga John Kagugube ku kyalo Kigatto mu Busumba bw'e Kibibi mu bulabirizi bwa Central Buganda n'agamba nti, kikulu omuntu okumatira ne ky'alina ate n'okukozesa amaanyi ge okutuuka kw'ekyo ky'aluubirira.

 bamu ku bakristaayo abeetabye mu kusaba ewa agugube mu igatto Abamu ku bakristaayo abeetabye mu kusaba ewa Kagugube mu Kigatto

 

"Oli yakwata ekinyonyi ne kimugamba nti, ng’enda kukubuulira ebintu bisatu, nga ekisooka; ky'olina tokita, beera mumalirivu, ate ekyokusatu mala kunta nkikugambe naye n'akita. Ekyaddirira n'ata ekinyonyi ne kimugamba nti, nze omubiri gwange gulimu ebyobugagga bingi era y'ensonga lwaki nakugambye nti, ky'olina tokita," Omusumba Kasujja bwe yabuulidde. 

Yasabye abantu omwaka gwa 2020, okugukozesa okutuuka ku biruubirirwa byabwe nga banyweza ebyo bye bafunye mu mukadde. Abavubuka yabakalaatidde okuba abeegendereza naddala mu kiseera kino nga kazigizigi w'ebyobufuzi asembera n'abawa amagezi okwenyigira mu bibakwatako ate era bafeeyo okunyweza obululu bwabwe babusuule mu kiseera ekituufu.

 ukyala agugube nga yeebaza abakulembeze beddiini abaasabisizza nabakristaayo abazze mu kusaba mu maka gaabwe mu igatto Mukyala Kagugube nga yeebaza abakulembeze b'eddiini abaasabisizza n'abakristaayo abazze mu kusaba mu maka gaabwe mu Kigatto

 

John Kagugube, nnannyini maka awaabadde okusaba kuno yategeezezza nti, kiba kya makulu abantu okutenderezanga Katonda buli lwe babeeranga n'omukisa okumalako omwaka ate n'okuyingira omuggya era n'asaba abantu okumwekwata kubanga tayiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...