TOP

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya

By Lilian Nalubega

Added 26th February 2020

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Lukyamuziwebuse 703x422

Omusumba Henry Lukyamuzi ng'asiiga abaana amafuta mu kusaba kw'okutandika ekisiibo

Bya Lilian Nalubega

Abaana b'amasomero beeyiye ku kkanisa y'omutukuvu Stephen e Kabowa mu kusaba okw'okutandika ekisiibo okubaddewo olwaleero era omusumba Henry Lukyamuzi abasiize amafuta okubawa omukisa.

Okusaba kuno kwatandise ku ssaawa ssatu ez'oku makya ng’abaana n'abasomesa baabwe baatudde mu kkanisa n'ebweru ne wajjula ekyawalirizza abateesiteesi n'abakebezi okupangisa entebe endala okusobozesa abayizi okwetaba mu kusaba.

Omusumba Lukyamuzi akubirizza abayizi  okukozesa ekisiibo kino okwezza obuggya badde eri Katonda era beenenye ebibi byabwe abasonyiwe balyoke bafune obulamu obulungi.

 bamu ku bayizi abeetabye mu kusaba ku kkanisa ya t tephen e abowa nga batandika ekisiibo Abamu ku bayizi abeetabye mu kusaba ku kkanisa ya St. Stephen e Kabowa nga batandika ekisiibo

 

"Ky'ekiseera buli muntu ave gye yeekwese yeeyoleke Mukama Katonda we era yeenenye anaamusonyiwa,” bwatyo omusumba Lukyamuzi bwe yagambye.

Yawabudde abasiiba ne bagenda nga beerangirira nti, kino kyonoona ekisiibo kyabwe. Yayongeddeko nti, abantu abamu baayiga n'okwewaanira mu nsobi ze bakola nga balabula bannaabwe ng’ekisiibo bwe kibawonyezza okugajambulwa so ng’asiiba aba yezza buggya ne Katonda we.

Yasabye abagoberezi ba Kristu okunyweza ebigendererwa by'okusiiba ebikulu beenenye, okwongera okuyimusibwa mu kukkiriza, okuwa abatalina busobozi kwetuusaako byetaago ate n'okwongera okulaga obuwulize bwabwe eri Katonda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...