TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ensonga 6 lwaki olunaku lwa Mmande lusiibibwa

Ensonga 6 lwaki olunaku lwa Mmande lusiibibwa

By Musasi Wa

Added 24th February 2012

KYANDIBADDE kirungi Omusiraamu omukkiriza okusiiba olunaku lwa Mmande (bbalaza) olw’obukulu bwalwo.

2012 2largeimg224 feb 2012 172544360 703x422

Bya Hafswa Nankanja

KYANDIBADDE kirungi Omusiraamu omukkiriza okusiiba olunaku lwa Mmande (bbalaza) olw’obukulu bwalwo.

Nabbi Muhammad (S.A.W) buli olunaku luno bwe lwatuukanga ng’alusiiba ekyatuusa ne Baswahaba be okumubuuza lwaki alusiiba. Sheikh Abdu Nuuhu Muhindo agamba nti;

1. Ekisookera ddala olunaku luno Nabbi Muhammad kwe yazaalibwa.

2.  Nabbi kwe yafunira obubaka. Sheikh Muhindo agamba nti mu Hadith emu Baswahaba baabuuza Nabbi Muhammad lwaki asiiba olunaku lwa Mmande n’addamu nti, “Olunaku olwo kwe nnazaalibwa, ekirala Allah kwe yampeera obubaka’.

3 Ekirala olunaku luno lwe lumu ku nnaku ebbiri mu wiiki emirimu gy’abantu lwe gyanjulwa eri Allah. Oluvannyuma lw’okubuuzibwa ku Mmande, baswahaaba baagattako n’Olwokuna ne bamubuuza lwaki azigatta bbiri olwa Mmande ne Lwokuna, Nabbi n’abaddamu nti, “ Emirimu gy’abantu gyanjulwa ennaku bbiri mu wiiki, olwa Mmande ne Lwokuna, na bwe kityo nange nsiiba kubanga njagala emirimu gyange gigende okwanjulwa nga nsiibye.”

4 Olunaku luno Nabbi Muhammad lwe yagenderako mu ggulu. Nabbi Muhammad bwe yali agenda mu ggulu okunona esswala ettaano mu lugendo olumanyidwa nga Isra wal Miraji yagenda ku lunaku lwa Mmande.

5 Nabbi bwe yali asenguka okuva e Mekka okugenda e Madiina yasenguka ku lunaku lwa Mmande. Oluvanyuma lw’okuyigganyizibwa abantu abatali Basiraamu Nabbi, Muhammad yasalawo okusenguka okuva e Mekka okugenda e Madiina era okusenguka kwe yakukola ku lunaku luno olwa Mmande.

6 Ekisembayo Nabbi ku lunaku luno kwe yafiira. Omusiraamu yenna agoberera ebyo Nabbi Muhammadi bye yakolanga kyandibadde kirungi okusiiba ku lunku lwa Mmande ne ku Lwokuna kubanga ofunamu empeera. Bw’oba tolusiibye tofuna musango kubanga lwa Sunnah.

Ensonga 6 lwaki olunaku lwa Mmande lusiibibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...