TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Buli Musiraamu abeeko ky’akola okutwala eddiini mu maaso’

‘Buli Musiraamu abeeko ky’akola okutwala eddiini mu maaso’

By Musasi Wa

Added 7th August 2012

AB' e Kibuli bagulidde badisitulikiti Khadi n’ab’amatwale pikipiki 16 n’eggaali 53 bagende mu byalo banoonye ettaka ly’Obusiraamu eryabbibwa.

2012 8largeimg207 aug 2012 101236283 703x422

Bya MUSASI WAFFE

AB' e Kibuli bagulidde badisitulikiti Khadi n’ab’amatwale pikipiki 16 n’eggaali 53 bagende mu byalo banoonye ettaka ly’Obusiraamu eryabbibwa.

Supreme Mufti, Sheikh Zubairi Kayongo ye yasindise abawalimu bano bwe yabadde abakwasa ebidduka bino ku Lwokutaano bagende babunyise enjiri. Byaguliddwa Abasiraamu b’oku muzigiti gwa Masgid Musa ogw’oku wooteeri ya Africana.

“Ky’ekiseera Abasiraamu okukomya okwogera buli omu abeeko ky’akola okulaba ng’eddiini egenda mu maaso”, Supreme Mufti bwe yagambye.

Imaam w’omuzigiti guno, Sheikh Hamidu Nsubuga yagambye nti ssente ezaaguze ebintu bino zaavudde mu Zzaka Abasiraamu abasaalira ku muzigiti guno gwe baasasudde omwaka guno.

Sheikh Nooh Muzaata Batte yakubirizza abaweereddwa ebidduka bino babyeyambisa n’okukunga abasiraamu bajjumbire okutoola Zzaka mu maali yaabwe.

Omukolo gwetabiddwaako n’omulangira Kassim Nakibinge.

‘Buli Musiraamu abeeko ky’akola okutwala eddiini mu maaso’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...