TOP

Mukole ebikolwa eby’ekisa okubunyisa obusiraamu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2018

Aba World Islamic Call Society bwe baazimba omuzikiti gwa Gaddafi e Kampalamukadde mu Uganda baayamba okusaasaanya enjiri y'Obusiraamu kuba gukozesebwa mu kusaala, okukuba enkung'aana, ensisinkano, okusomesa n'ebirala byonna nga bibunyisa enjiri y'Obusiraamu mu ggwanga n'ensi yonna. Okusaasaanya eddiini y'Obusiraamu kiyisibwa mu kusaala, mu kuyamba n'okukola ebikolwa ebirala ebisikiriza abantu abalala okugyegattako.

Websheikhmuhammedshatir 703x422

Sheikh Muhammed Shatir mu kifaananyi omuli omuzikiti gwa Gaddafi

Bya Sheikh Muhammed Shatir Khalif
 
Obusiraamu bukubiriza okuzimba omuntu n’amawanga n’okusiga okwagala okw’obulungi, obutukuvu, okugaba oba obuyambi,  okwewaayo ku lw’abalala, obumu, enkolagana n’ebirungi ebirala bingi ebyetaagibwa mu nkola yo ne mububaka bw’owa abalala.
 
Akulira ekibiina kya World Islamic Call Society, Sheikh Muhammed Shatir Khalif yannyonnyodde nti ng’akozesa Uganda ng’ekyokulabirako, ng’asinziira ku kulaba kwe, mu kukola ne mu byagoberera ng’ayita mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo n’ensisinkano ze yeetabyemu n’emboozi n’abantu ssaako enkuhhaana ku mulamwa guno mu lukale ne mu byobufuzi ebintu nga bino byonna bisoboka.
Okugeza omuzikiti omukulu ogwa Gaddafi ku Old Kampala ogwazimbibwa aba World Islamic Call Society gukozesebwa ku nsonga ez’enjawulo ng’oggyeeko okusaaliramu.
 
Abantu basisinkanirawo mu ntuula ez’enjawulo, basomeramu era mulimu n’etterekero ly’ebitabo ery’omulembe eririna ebitabo ebisoba mu 150,000 mu Luwarabu ne ssaayansi w’Obusiraamu, ssaako okukozesa tekinologiya  ow’ekika ekya waggulu.
 
Ate nga kye kitebe ekikulu eky’Obusiraamu mu Uganda ekya Uganda Muslim Supreme Council awatuula Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje.
Wano era wakozesebwa ebitongole by’Obusiraamu eby’enjawulo mu ggwanga, awasisinkanirwa abasomesa b’eddiini y’Obusiraamu okuva mu mawanga ga Buwarabu n’ag’Abasiraamu mwe bayita okusomesa n’okusaasaanya eddiini n’enkola za Allah, obuwangwa n’empeereza  ez’obuyambi.
 
 ufti heikh ajab amathan ubajje ku kkono ne heikh uhammed hatir ku muzikiti gwa addafi ku ampalamukadde Mufti Sheikh Rajab Ramathan Mubajje (ku kkono) ne Sheikh Muhammed Shatir ku muzikiti gwa Gaddafi ku Kampalamukadde
 
Abakungu n’ebibiina bya Bannabyabufuzi nabo balina omukisa okusisinkana n’abakulembeze b’Obusiraamu mu muzikiti guno. Ab’ekibiina kya Islamic Call Society be bayima b’emirimu gino  era minvuuli egatta ebibiina n’amawanga okutuukirizaebigendererwa ebyakitandisaawo.  
 
Omulimu guno gulaga nti, gukina kinene kye gwagatta mu kuzimba eggwanga lino n’obutebenkevu bw’enzikiriza n’enkolagana ennungi eya Uganda n’amawanga amalala, ebibiina n’ebitebe by’amawanga ebikolera mu  Uganda. 
Bino byonna bikola kinene mu kusaasaanya Obusiraamu mu ggwanga ekikolwa Allah kye yalagira eky’okubunyisa eddiini mu nsi yonna era oyo yenna akikola afuna empeera.
 
Buli kimu ekikolebwa mu linnya lya Allah kiwangaala n’okugumira embeera yonna , ate ekitakolebwa mu linnya lya Allah kijja kusaanawo.
Omuwandiisi ye Dayirekita wa World Islamic Call Society.
 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...