TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebintu 12 by’okola okwetegekera ekisiibo

Ebintu 12 by’okola okwetegekera ekisiibo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

NG’ENNAKU z’omwezi mukaaga omwezi ogw’okutaano lwe tusuubira okutandika ekisiibo eky’ennaku 30 eky’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan.

Genda 703x422

S heikh Adam Walusimbi

Guno mwezi gwa mwenda era gwa kweyoolera mikisa na mpeera era omuntu yenna gwe gusanzeewo nga mulamu era n’asiiba ennaku ze zonna n’azimalako bulungi, Allah amusonyiwa ebibi bye byonna.

Kino kitegeeza nti, omuntu Omusiraamu yenna nga mukkiriza kino ky’ekiseera eky’okweteekateeka osobole naawe okweyoolera ku mpeera ezigulimu.

WEETEESETEESE OTYA?

Sheikh Adam Walusimbi, Imaam ku Mukwano mosque mu kibangirizi kya bannamakolero annyonnyola bw’ati ku nsonga eno:

1 Okweteekerateekera ekisiibo tekitegeeza kuteekateeka bya kulya oba byakunywa, wabula ggwe kennyini munda ne wabweru w’omubiri gwo.

2 Oteekeddwa okuba omusanyufu nga weesunga kubanga guno omwezi gwa Ramadhan alinga omugenyi ow’ekitiibwa ng’obadde omulindiridde ebbanga lya mwaka mulamba. Essanyu ly’owulira ng’omuwulizza nti atuuse, ly’olina okufuna ku mwezi guno.

3 Omuntu yeetegeka nga yeenenya ayingire mu mwezi ogwo omutukuvu nga talina nsobi yonna gy’alina. Kubanga sizoni eno ya kwenyagira birungi. Guno mwezi gwa mikisa, kusaasirwa era mwe muggulirwawo emiryango gya Jjana gyonna ate emiryango gy’omuliro ne giggalwa.

4 Muno mwe muli okuliwa amabanja agaasigalira mu Ramadhan eyayita. Muno mwe muli abakyala abaali mu nnaku zaabwe eza buli mwezi, abaali embuto oba nga bayonsa. Kuno ossaako omuntu yenna eyali omulwadde nga tasobola kusiiba.

5 Oteekeddwa okubeera n’enniya ennungi n’omalirira okugeza nti, In shaa Allah ηηenda kusoma Kulaani yonna ngimaleko. Oba nti ηηenda kusiibulula Abasiraamu, n’ebirala

6 Twetegeka nga tumanyi nti, mwezi gwa kusonyiyibwa noolwekyo olina okuguyingira nga weegayirira Allah akusonyiwe ebyonoono.

7 Twetegekera Ramadhan nga tuyamba bannaffe abali mu buzibu kubanga bangi ku bannaffe abatasobola kwetuusaako bwetaavu naye nga bateekeddwa okusiiba. Noolwekyo weeteekateeka ng’ogamba nti bwe nnyingira mu Ramadhan ηηenda kuyamba abantu era otegeke ssente ezigenda okubayamba n’okuliisa abalala.

8 Omuntu yeetegeka nga weewala ebyo byonna ebiyinza okwonoona Ramadhan yo okugeza, obutabeera na bakyala abatali bawoowe. Ggwe amulina kino ky’ekiseera okumuwoowa oba omute. Weewale ebikolwa byonna ebyonoona ebiseera byo ng’okukuba ludo, beetingi, okwebaka n’ebirala. Ebiseera bino bikolemu ‘sunna’ ezikuyingiza mu Ramadhan.

9 Longoosa empisa zo n’abantu abalala. Weeyise bulungi nga tobanakuwaza, bano batandikira ddala ku b’omu nju yo, baliraanwa n’abooluganda lwo bonna nga tobasosodde babeere bato oba bakulu.

10 Olina okweteekateeka ng’osaba Allah akuteere emikisa mu mwezi guno gw’olimu akutuuse mu mwezi ogwa Ramadhan.

11 Weetegekere Ramadhan n’obumalirivu obwa waggulu ng’omanyi nti ogenda mu mwezi gwa kuyoola birungi.

12 Longoosa ennyambala yo naddala ku bakyala abalaalikibwa okwambala engoye empanvu ezibikka emibiri gyabwe olwo tuleme okufi irwa empeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja