TOP

Empeera z'ofuna bw'osiiba ennaku 10

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2019

Siiba ennaku 10 mu Dhul hijja oyoole empeera okuva ewa Allah

Abasiraamungabafunawuzu3webuse 703x422

Abasiraamu nga bafuna wuzu okugenda okusaala

Bya Hafswa Nankanja  

Allah bwe yali atonda ensi, yaddira ebintu ebimu n’abisukkulumya ku birala. Yasukkulumya omwezi gwa Ramadhan ku myezi emirala, ate ku myezi egyo n’asukkulumyamu ennaku 10 mu mwezi ogwa   Dhul hijja.

Sheikh Salim Bosa Kiyingi, Imaam w’omuzikiti annyonnyola obukulu bw’ennaku zino.

Allah yazirayira mu Kulaani Surat (Al fagir aya : 1, 2 ne 3) n’agamba nti, “Ndayidde amakya n’ennaku ekkumi ezisooka mu mwezi ogwa Dhul hijja”.  Allah talayira kintu okuggyako olw’ekitiibwa n’obukulu bwakyo.

Ennaku zino ze zisinga ennaku zonna eziri ku nsi obulungi mu mwaka gwonna. Hadith ng’eva ku Abihurairah egamba nti, Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti ennaku ezisinga obulungi ku nsi z’ennaku 10 ezisooka mu Dhul hijja. 

 ajjati      ngannyonnyola Hadijah Tebajjukira ng'annyonnyola

 

Ekizifuula enkulu

Zikung’aanya buli Ibaada (buli kalungi omuntu akafunamu). Ibun Abbas yagamba nti, Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, “Teriiyo nnaku muntu mw’akoledde mulimu mulungi nga gw’akoledde mu nnaku 10 ezisooka mu Dhul hijja, baswaba ne babuuza Nabbi Muhammad nti, ne bw’eba Jihaadi? Nabbi n’addamu nti, kituufu k’ebeere Jihaadi tezisinga okuggyako ng’omuntu afulumye n’emmaali ye yonna n’agenda okulwana kyokka n’afiirayo mu Jihaadi n’atadda n’emmaali ye”.

Muno mwe muli Hijja, empagi eyookutaano mu mpagi ez’Obusiraamu. Mulimu Ibaada ennene ey’okusala ebisolo. Teri mulimu gusinga kwagalibwa mu maaso ga Allah ng’okusala ebisolo ku lunaku lwa Iddi.

Mulimu olunaku olwa Arafa, olusinga ennaku zonna mu mwaka ekitiibwa. Olunaku luno Allah mw’asonyiyira abaddu be bonna ababeera bayimiridde mu hijja. Teriiyo lunaku lwonna ‘shayitwani’ lw’ekogga mu maaso ga Katonda nga lwa Arafa. Kubanga etunuulira abantu bonna abali mu hijja abakola Ibaada ez’enjawulo, abasiibye, n’ebirala nga Allah abasonyiye kyokka nga yo tesonyiyiddwa.

Ennaku zino nkulu n’okusinga ezo ekkumi ezisemba mu Ramadhan kubanga zo tezaawula (zigatta) emisana n’ekiro. Okwawukanako ne ‘layiratulkhadir’ gye tulindirira mu kiro ekimu, zo oziganyulwamu ekiseera kyonna okuva lwe zitandise okutuuka lwe ziggwaako.

 heikh sereko Sheikh Nsereko

 

By’olina okukola 

Buli kalungi k’omanyi mu Busiraamu kakole ng’okakola n’ekigendererwa kya kusiimibwa Allah, olw’ensonga nti, buli mulimu gwonna gw’okoleddemu guzitowa mu maaso ga Allah okusinga omulimu gw’omu nnaku endala zonna. Okugeza; Okusaala esswala k’ebeere ya ‘faradha’ oba ‘sunna’ ogifunamu musera.

Okusiiba, okusoma Kulaani, okusaddaaka, okutoola zzaka, okulagira okukola emirimu emirungi n’okuziyiza okukola emirimu emibi, okuyitiriza okutendereza Allah.

Okuyunga oluganda nga tukyaliragana n’okulambula ku balwadde.

Okuliisa abanaku, okukyalira ku bazadde oba okubabuuzaako n’ebirala.

 heikh adru afuuma Sheikh Badru Kafuuma

 

Seeka Nsereko Muhammad Muusa, Mawokota - Buganga: Ennaku zino nkulu mu bulamu bwa buli mukkiriza. Mulimu olunaku oluyitibwa Arafa nga lwe lusembayo, Nabbi Muhammad (S.A.W) yatugamba nti omuntu  bw’asiiba olunaku luno abeera ng’asiibye emyezi 83.

Hadija Tebajjukira, Bugerere - Nakifuma: Ennaku zino za kwenyagira mpeera mu maaso ga Allah. Tukoleremu emirimu emirungi gyonna egyalagibwa, okugeza, okuyunga oluganda, okukoowoola abantu okubazza eri obulung’amu n’emirala. Tetulina kwesiba ku kusiiba kwokka.

Hajji Badru Kafuuma, Kyengera:  Ennaku zino mwe tukolera empagi y’Obusiraamu esembayo eya Hijja. Ssinga hijja yo gy’okoze Allah agikkiriza, kikusonyiyisa ebibi byo byonna bye wasooka okukola. Era obeera ng’omwana omuto eyaakazaalibwa atalina zzambi lyonna. Abasiraamu tuzuukukeko ekiro tusaaleko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...