TOP

By'olina okukola ku lunaku lwa Arafa

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2019

Omukkiriza tosaana kuyitwako lunaku lwa Arafa lw'osonyiyibwa amazambi ag'emyaka ebiri

Sheikhadamwalusimbiowamukwanomosquengasomaquranwebuse 703x422

Sheikh Adam Walusimbi ng'asoma Kulaani

Bya Hafswa Nankanja

Mu nnaku Allah ze yatonda ate mulimu ze yasukkulumya ku zinnaazo. Mu zino mwe muli ennaku 10 ez’omwezi gwa Dhul Hijja nga gwe tulimu. Olw’obukulu bwazo, Allah kyamutuusa n’okulayira mu Kulaani Surat Fajir nti, “Ndayidde emmambya ng’obudde bukya, n’ennaku 10 zino”.  Ye omubaka wa Allah Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, teriiyo nnaku mu nnaku ez’omwaka omulamba zisinga mpeera ewa Allah wadde omulimu ogukolebwa ne gusinga zino ennaku 10.

Sheikh Adam Walusimbi, Imaam w’omuzikiti gwa Mukwano kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo, agamba nti mu nnaku zino namwo mulimu olunaku olw’ekitiibwa olumanyiddwa ng’olwa Arafa.

 bamu ku baagenda okukola ijja nga bali e ecca Abamu ku baagenda okukola Hijja nga bali e Mecca

 

Olunaku luno lujja kubeerawo ku Lwa mukaaga ng’enkeera Iddi. Luno lwe lunaku olukomekkereza emikolo gya hijja gyonna era omuntu akoze hijja n’atayimirirako mu lusenyu  Arafa hijja ye ebeera nfu kubanga Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, ‘ekiyitibwa hijja kwe kuyimirirako mu lusenyu lwa Arafa’.

Ebirungi ebirulimu:

 1. Allah ata ensingo z’abaddu be okuva mu muliro. Nabbi Muhammadi (S.A.W) yatutegeeza nti, “Teriiyo lunaku Allah lw’asinga kuta baddu be okuva mu muliro n’abasonyiwa ng’olwa Arafa”.
 2. Edduwa gy’osabiramu eyanukulirwawo.
 3. Omuntu alusiibye Allah amusonyiwa amazambi g’omwaka ogwo n’ag’omwaka oguddako.
basiraamu nga basaala esswala ya uma mu muzikiti omupya ogwa asawo Abasiraamu nga basaala esswala ya Juma mu muzikiti omupya ogwa Kasawo SS

 

By’olina okukoleramu

 1. Tuteeketeeke bye tugenda okusaba nga tetulumbagana bannaffe, okugeza, tosabira munno kintu kimunyiiza oba ekimumalako essanyu. 
 2. Tuyitirize okusaba Allah ebirungi naddala okutukuumira Obusiraamu, ebiyungo, abantu bo, w’oggya eky’okulya ne w’osula.
 3. Okukoleramu emirimu emirungi nga mu gyo mwe muli okuyitiriza ebigambo nti, “Laa ilaaha illa Allahu wahadahu laa shaliikalahu, lahul muluku walahul hamudu wahuwa alaa kulli shayi –el kadiiru.”
 4. Tusaddaake mu bikolwa bya ssente, emmere, ebigambo n’ebikolwa ng’okuggya eriggwa oba omusumaali mu kkubo wadde nga si ggwe  walitaddewo.
 5. Okuyunga oluganda n’okukyalirako abalwadde.
 6. Okusoma Kulaani
 7. Okusaala esswala za faradha n'eza sunna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu