TOP

Muweeyo eri Allah mulyoke mumusabe

By Musasi wa Bukedde

Added 8th August 2019

Abasiraamu mutoole akatono ke mulina mu kusaddaaka mugaggawale ku lwa Allah

Kaadhiwamukonoabdunoorkakandeakuttekukisengengaggulawoomuzikitigwakasawossemukonowebuse 703x422

Kadhi Kakande ng'aggulawo omuzikiti ku Kasawo SS

Bya Hafswa Nankanja

Kadhi wa Mukono n’emiriraano, Abdu Noor Kakande akuutidde Abasiraamu okunyiikira okuwa saddaaka mu nnaku zino 10 ez’omukisa ez’omwezi gwa Dhul Hijja ze tulimu.

“Zino ennaku ze tulimu za kwenyagira mpeera na kwegayirira mungu ate buli ebikutte. Muweeyo eri Allah mulyoke mumusabe. Tosobola kusaba Allah kukuwa ate nga ggwe oli mukodo eri abalala,” Kadhi Kakande bwe yagambye.

muzikiti ogwazimbiddwa nga bwe gufaanana Omuzikiti ogwazimbiddwa nga bwe gufaanana

 

Bino yabyogeredde ku ssomero lya Kasawo SS e Kyaggwe - Bugerere bwe yabadde aggulawo omuzikiti gw’essomero, Kasawo Masgid Musa, ogwazimbiddwa abamu ku bayizi abaasomerako mu ssomero eryo nga baakuliddwa Yahaya Kasujja.

Yagasseko nti, omuntu yenna ayagala okugaggawala tolina kusabiriza balala wabula, ggwe waayo akatono k’olina olwo Allah omusabe nga bw’omujuliza ye ajja kukutemera empenda. Saddaaka tetegeeza ssente zokka wabula ne mu bintu ebikalu ng’engoye, ebyokulya n’okulagira okukola emirimu emirungi.

Hajjati Hazida Nsubuga, omukulu w’essomero yasiimye era n’asaba abayizi okwongera okukolaganira awamu n’obukulembeze bw’essomero lino kiyambeko okwongera okulikulaakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte