TOP

Musuule shirik mulyoke musabire abaana bammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2019

Sheikh Muhammudu Ssekimwanyi asabye abazadde okusooka okusuula shirik balyoke basabire abaana baabwe nga baagala bayite ebibuuzo

Kabembe1webuse 703x422

heik Muhamood Ssekimwanyi, owa Bukoto Natetee (mu ganduula), n'abamu ku Basiraamu okwabadde Hajji Kitaka Kavulu, Sulait Naakalya abamu ku baategese okusaba kuno mu kusabira abayzi Abasiraamu abagenda okutuula ebigezo eby'akamalirizo abaavudde mu masomero ag'enjawulo e Mukono

Bya Madinah Sebyala

Sheikh Ssekimwanyi asabidde Abasiraamu abagenda okutuula ebigezo  by’akamalirizo e Mukono

Sheikh Muhamood Ssekimwanyi omu ku ba Imaam b'oku muzikiti gwa Bukoto- Nateete akulembeddemu Abasiraamu b'e Mukono n'asomera abayizi abagenda okukola ebigezo by’akamalirizo Duwa n'abawonga eri Katonda. 

Yagambye nti, Duwa eruubiriddwaamu okwebaza Katonda okusobozesa abayizi okutuuka we batuuse n'okubakwasa Katonda asobole okubatangira ebizibu byonna ebiyinza okubatuukako mu kiseera nga bakola ebigezo n’okubajjukiza byonna bye basoma bye bayinza okubabuuza basobole okubiddamu mu butuufu bwabyo. 

Yabuuliridde abayizi obutawummula n'okwesaasira okutuusa nga bamalirizza ebigezo era n'abasaba bulijjo okunyiikira okusaba buli kiseera Katonda asobole okussa ekisa kye mu buli kye bakola.

Yabadde ku muzikiti gwa Salaam Masgid e Kabembe mu Gombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti ya Mukono ku Lwokutaano ku Dduwa eyategekeddwa okuwonga abayizi abagenda okukola ebigezo byakamalirizo eri Katonda nga bano baavudde mu masomero ag’enjawulo nga gwategekeddwa Abasiraamu bannakyewa ab'e Mukono okwabadde Hajji Kitaka Kavulu, Sulait Naakalya, Ssentebe wa LC1 ku kyalo Kabembe Twaha Katumwa n'Abasiraamu abalala. 

Sheikh Ssekimwanyi yajjukizza abazadde bongere okusabira abaana baabwe kubanga edduwa y'omuzadde Allah agyanukula mangu kyokka n'abalabula nti basooke beegobeko shirik asobole okubaanukula n'okubasonyiwa.

Mw. Sulait Nakalya, omu ku baategese omukolo guno yagambye nti guno mulundi gwakubiri nga bateekateeka omukolo guno oluvannyuma lw'okukizuula nti abayizi bangi basubwa omukisa gw'okubasabira nga bannannyini masomero beekwasa enjawukana mu ddiini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo