TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Mukomye okutiitiibwa abaana nga mubasomesa eddiini

Mukomye okutiitiibwa abaana nga mubasomesa eddiini

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2019

Omubaka wa Saudi Arabia mu Uganda, Bandar Muhammadi al Fiif, akubirizza Abasiraamu okukomya okutiitiibya abaana naddala nga babasomesa ebikwata ku ddiini kubanga n'ensi ebakanulidde amaaso

Asimabintabubakaromuwalaeyasinzengayeebazahajiadamntaleowantaleskinproductsolwokumuwahijjamusuutiemyufuyehajimbalirwaishakaomukuluwessomerolinowebuse 703x422

Asima bint Abubakar, omuwala eyasinze nga yeebaza Hajji Adam Ntale, olw'okumuwa Hijja. Mu ssuuti emmyuufu ye Hajji Mbalirwa Ishaka omukulu w'essomero lino

Bya Hafswa Nankanja

Omubaka wa Saudi Arabia mu Uganda, Bandar Muhammadi al Fiif, akuutidde abazadde okukomya okutiitiibya abaana naddala bwe kituuka ku bintu by'okubasomesa eddiini yaabwe, n'agamba nti kimu ku bisinze okuboonoona. "Tuteeekeddwa okumanya nti, abaana baffe batambulira mu nsi ebakanulidde amaaso nga gye basisinkanira abantu abalina ebigendererwa ebikyamu. Kitegeeza nti, oyo atalina ddiini ku mutima, asanga okusoomoozebwa okw'amaanyi", Bandar bwe yagambye.

 bamu ku bayizi abalenzi abaatikkiddwa ngabali nomubaka wa audi rabia mu ganda Abamu ku bayizi abalenzi abaatikkiddwa ngabali n'omubaka wa Saudi Arabia mu Uganda (asibye omuge omuddugavu)

 

Yabadde ku Madinah Islamic School e Katereke - Nsangi, ku mukolo ogw'okutikkira abayizi abaamalirizza emisomo gy'eddiini y'Obusiraamu, n'okusabira abayizi abakola ebigezo by'akamalirizo  kwe yabadde omugenyi omukulu.

Yasabye abazadde okulekera awo okukozesa ebigambo 'omwana yeesalirawo' nti, bino bivaako abaana okukula nga bakiwagi abatawabulwa. Bo abaatikiddwa yabasabye okusigala nga beetoowaze eri buli muntu okuva ku mwana omuto okutuuka ku mukulu kubanga okuweereza Katonda tekusosola mu myaka.

 bawala abaatikkiddwa Abawala abaatikkiddwa

 

Sheikh Salim Bbosa Kiyingi, akulira ebyenjigiriza eby’eddiini ku Madinah Islamic SS yagambye nti, gano ge matikkira ag'omulundi ogwokutaano era abayizi abasoba mu 38 be baatikiddwa. Yabasabye okussa mu nkola ebyo bye basomye n'okubisomesa abalala.

 ayirekita wa adinah slamic  heikh bdunoor usuulwa mu jubba emmyuufu andar uhammadi al iif amuddiridde ku kkono ne ajji dris sereko jajja wa adinah nga batikkira abayizi Dayirekita wa Madinah Islamic SS Sheikh Abdunoor Busuulwa (mu jubba emmyuufu), Bandar Muhammadi al Fiif, amuddiridde (ku kkono) ne Hajji Idris Nsereko Jjajja wa Madinah nga batikkira abayizi

 

Umar Tebuusweke, ye yasinze banne era aba Well Travel ne bamusasulira Umra.

Hajji Adam Ntale, owa Ntale Skin Products ye yasasulidde omuwala eyasinze banne, Asima Bint Abubakar, hijja.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...