TOP
  • Home
  • Eby’eddiini
  • Ayaayaana okusembeza omutima gwe okumpi ne Allah nyiikira okusiiba

Ayaayaana okusembeza omutima gwe okumpi ne Allah nyiikira okusiiba

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

Omusiraamu ayagala okusembeza omutima gwe eri Allah nyiikira okusiiba ennaku za Sunna

Kasiiba31webuse 703x422

Sheikh Ali Gwamba ng'alaga kalenda y'Obusiraamu bw'etambula n'ekuyamba okusiiba

Bya Madinah Sebyala

Okusiiba y’emu ku mpagi z’Obusiraamu esinga okusembeza omwoyo gw'omukkiriza eri Allah kubanga ye yekka ye yeesigaliza obuyinza  bw'okusasula empeera eri omusiibi. Kyokka olw’okuba okusiiba omwezi gwa Ramadhan kya tteeka eri Omusiraamu bangi bwe bamalako ekisiibo balowooza nti, biwedde; nedda kikwetaagisa okugenda mu maaso n'okusiiba kubanga oyongera okuyoola empeera. 

Okwewala okulya n'okunywa  ekintu kyonna  n'okwewala ebikolwa by'omukwano  mu kiseera ekigere ky’onuyiridde okusiibiramu oba kisiibo kya Ramadhan oba nnaku za Sunna oba okwetema okusiiba kye kiyitibwa okusiiba.

Omukulu w'ettwaale lya Mukono Central mu kibuga ky’e Mukono, Sheikh Abdunul Kasolo agamba nti buli Musiraamu ng’oggyeeko okusiiba okw’etteeka okuva ewa Allah akikole kuba kikola ng’eddagala mu bulamu bwaffe ne mu mwoyo.

Okusiiba kiraga nti, ossa ekitibwa mu Allah kubanga ly’ekkubo erisinga okusembeza omutima gwo eri ne Katonda kubanga omuntu asiibye yeewala okukola ensobi kuba alabira ddala nga Allah amulaba.

 heikh asolo ngannyonnyola ku kusiiba mu usiraamu Sheikh Abdunul Kasolo ng'annyonnyola ku kusiiba mu Busiraamu

 

Ebika by’okusiiba

Sheikh Abdunul Kasolo agamba nti, waliwo ebika ebiwerako kyokka ebisinga obukulu bya mirundi esatu.

1. Ramadhan: Guno gwa tteeka ng’omwana omuwala atandikira ku myaka 9 ate omulenzi ku myaka 15 okusiiba kuba we bategeerera obulungi era wano basiiba wakati w’ennaku 28 okutuuka ku 30.

2. Sawumu Suuna:  Zino mulimu okusiiba ennaku 6 oluvannyuma lwa Ramadhan, waliwo ennaku ze bayita enjeru mu kalenda y’Obusiraamu okuva nga 13,14 ne 15.

Sheikh Kasolo ajuliza nti, mu Hadith ya Swahihi Tilimivdhi Nabbi Muhammad (S.A.W) atugamba nti, mwettanire okusiiba ennaku enjeru buli mwezi era eno ye Hadith esinga okuba ey’amaanyi mu maaso ga Allah. Bw’osiiba ennaku enjeru obeera ng’asiibye omwezi omulamba kubanga buli lunaku lulimu ennaku 10.

Mu kusiiba kwa sunna mulimu n’olunaku lwa Mmande kubanga lwe lunaku olw’amazaalibwa ga Nabbi Muhammad (S.A.W) era baswahaba bwe baabuuza Nabbi Muhammed (S.A.W) yabaanukula nti, Mmande lwe lunaku lwe nazaalibwako mu mwezi gwa Rabi’l Awwal, ate ku Lwokuna lusibibwa kubanga lwe lunaku okwanjulirwa emirimu gyaffe ewa Allaha nga bwekityo kirungi okwanjulibwa emirimu gyo ng’asiibye ate era lwe lunaku olusemberera Juma, Allah mwayanukulira emirimu gyaffe egyanjulwa ku Lwokuna.

3. Okusiiba nga weetemye oba okweyama: Kino okikola n’ekigendererwa kya kusanyusa Allah. Mu sulati Dhaha oba sulat Isan, aya 9 - 9 ekkiriza obweyamu egamba nti, siiba ng’olina ekiruubirirwa oba ky’osaba okuva eri Allah, okugeza, omwana wange bw’anaayitira waggulu ebigezo nja kutuukiriza kino. Ssinga ofuna kye wasiibira ate n’ototuukiriza kye weetema gufuuka musango era bw’ofa ng’abooluganda baakitegeddeko nti weeyama, bakusiibira. Kyokka ate ssinga ofa obanjibwa ennaku mu mwezi gwa Ramadhan, abooluganda lwo bakuliisiza abantu mu ngeri y’okusaddaaka. 

Okusiiba gwe mulimu gwokka Allah gwe yeesigaliza okuwa empeera oba obubonero olw’obuzito obugulimu. Era mu miryango gya Jjana munaana, Allah kwe yajja omulyango gwa Rayaani abasiibi bonna mwe bagenda okuyita okuyingira.

Sheikh Ali Gwamba, Imaam ku muzikiti gwa Mukono Masgid Atiq, agamba nti waliwo ennaku endala ez’okusiibiramu okugeza olwa Arafa balusiiba ng’abamu babeera bagenze Mecca kutuukiriza mpagi ya Busiraamu ate abamu era basobola okusiiba olunaku olwo wadde tebagenze. Waliwo n’ennaku endala ku kalenda y’Obusiraamu era z’oyinza okusiiba nga za Sunna.

 am abakaawu agamba okusiiba kukuziyiza ebikemo byensi Zam Nabakaawu agamba okusiiba kukuziyiza ebikemo by'ensi

 

Obulombolombo bw’okusiiba

1. Okuyitiriza okusaala naddala sswala zonna ettaano. Zino zongera okukunyweza omutima eri Allah.

2. Funayo edduwa gye weesibako mu kiseera ky’osiibiramu ng’osaba Allah akuwe ebirungi mu nsi ne mu Ggulu byonna bikugondere.

3. Yitiriza okusaba ekisonyiwo ku byonna ebitagenda bulungi mu maaso ga Allah ate era ogatteko ne bakadde bo oba gyebali oba baafa.

4. Asiibye fuba okubeera ng’oli mutukuvu ggwe omukyala eyaakazaala oba ali mu nsonga tokkirizibwa kusiiba.

Yitiriza okusaddaaka naddala ng’ogabira abantu abateesobola obuyambi okutukuza okusiiba kwo.

5. Omusiibi weewale okuyomba, obutayagaliza, okusonyiwa, okukkiriza Allah kyonna ky’akugeredde kuba tagera bubi.

6. Yambala mu ngeri eweesa Allah ekitiibwa oba ng’Obusiraamu bwe bulagira okwewala okwesiibulula.

7. Oteekeddwa okusiiba ng’otegeera bulungi, toli mulwadde, nga toli mu lugendo. 

Zam Nabakaawu agamba nti, kirungi okusiiba kubanga mu mutima gwo obeera n’eddiini ekuyamba okulwanyisa ebikemo by’ensi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...