TOP

Lady Damali Kisosonkole

By Musasi Wa

Added 14th July 2010

Ababaka abamu bagamba nti enkola eyo yanditandise kuva mu 1962 ku bantu nga Nabagereka Lady Damali. Kyokka Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti Muky. Seezi Mbaguta n’abagumya nti baali baganyulwa mu tteeka ekkadde.

Kino kiri bwe kiti kuba ku ntandika y’emyaka gy’e

Ababaka abamu bagamba nti enkola eyo yanditandise kuva mu 1962 ku bantu nga Nabagereka Lady Damali. Kyokka Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti Muky. Seezi Mbaguta n’abagumya nti baali baganyulwa mu tteeka ekkadde.

Kino kiri bwe kiti kuba ku ntandika y’emyaka gy’ekyenda, Damali yeemulugunya eri eyali munnamawulire wa Star ne Ngabo , omugenzi Robinah Nabakooza nti yali tafiibwaako. Pulezidenti olwabisoma, n’amusindikira obuyambi. Kyokka okuva olwo, abadde yeewala bannamawulire.

Lady Damali  alese omukululo mu Uganda. Ajjukirwa olw’engeri gye yakungubagiramu bba ng’awang’angusiddwa mu 1953 ‘ n’asibwa ne muto we era muggya we Sarah Kisosonkole mu nsasagge ya 1966, ate n’akyuka okuva mu Bupolositante n’afuuka Omukatoliki mu 1971.

Okusinziira ku katabo ka Musizi May 1971, Nabagereka yawandiikira omulabirizi w’e Namirembe Danstan Nsubuga, ebbaluwa nga yeemulugunya olw’ekkanisa ya Uganda okukkiriza eddaame lya bba eryagaana okulaamira omwana owuwe ow’empeta (omulangira Henry Katabaazi Kalemeera yinginiya w’ennyonyi mu San Francisco mu Amerika) obusika ne bulaamirwa omwana wa muganda we Sarah, omulangira Ronnie Muwenda Mutebi 1975.

Olunaku lwa Ssande eyaddako yeesitula ng’awekerwako abaana be n’agenda asomera Missa ye eyasooka mu Lutikko e Lubaga gye yayanirizibwa n’essanyu eringi Abakatoliki abaakulemberwamu eyali Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Emannuel Kiwanuka Nsubuga.
Omugenzi Damali Nakawombe, yazaalibwa mu 1929. Muwala w’omugenzi C.M.S. Kisosonkole, eyaliko Katikkiro wa Buganda ku mirembe Emicwa ll ate nga nnyina ye Victoria Kisosonkole, muwala wa Ham Mukasa eyali ow’essaza Ssekiboobo Kyaggwe.

Gye yasomera

Yasomera Buddo Junior School. King’s College Buddo  gye yasomera ne Sir Edward Muteesa oluvannyuma eyafuuka bba, n’amalira mu Shabon College e Bungereza nga ye Muddugavu eyasooka okugisomeramu.

Muteesa by’amwogerako
Mu katabo ka, Desecration of My Kingdom (1967), Sir Edward Muteesa atunyumiza nti yasoma ne Damali ne Sarah ne bamukwata omubabiro nti era olumu yayagala okubakolera akeewuunyisa, bwe yavulumula eggaali kafuufu kyokka aba abayitako n’alemererwa mu kkoona n’agwa. “bajja badduka nga bakuba emiranga olw’okunnumirirwa n’okunsasira ate era n’okutya!”

Muteesa bwe yakomawo okuva e Bungereza ng’akoonodde diguli mu byobufuzi n’ebyekijaasi okuva mu yunivasite y’e Cambridge, waayitawo ennaku ntono n’ategeeza Olukiiko nti yali afunye  omubeezi era ng’ono ye yali Damali Kisosonkole.

Emikolo gy’okwogereza n’okwanjula baagiyitamu nga bayita mu bassenga bwe ku njuuyi zombi. Nti wadde yali aky’alina Nakku, omuzaana wa Kabaka ow’emikolo, gwe baamuwa ng’atikkirwa, yali asajjakudde ng’atuuse okwefunira omubeezi, wadde mu nnono, Nakku era yali takkirizibwa kufumbirwa. Agamba nti baasigala nga ba mukwano ne Nakku ne we yawandiikira akatabo ke.
Muteesa atutegeeza nti yaggyawo akalombolombo ka Kabaka obutawasa wa Nkima nti olw’okuba Mugema jjajja wa Buganda. Embaga mawuuno eyanyeenya n’emiti yali mu kkanisa Lutikko e Namirembe nga November 19 era ng’omulabirizi Stuart ye yabagatta. Nnamungi w’omuntu yayitirira.
Ekiteeteeyi ky’omugole kyalagirizibwa Debenham ne Freebody era kyamalawo paunda za Bungereza 110.

Emperekeze y’omugole yali muto we Sarah, Muteesa gw’agamba nti ye yali asoose okumulya obwongo. “Waliwo lwe nnakyuka okumutunuulira ne nsanga ng’atunudde wansi okukweka obuggya obw’obutonde,” bwatyo Kabaka bw’anyuma ku b’oluganda ababiri be yawasa. Sarah eyakoonola ekitiibwa ekya Kabejja, oluvannyuma ye yalya obwannamasole bwa Buganda, mutabani we Ronnie Mutebi bwe yabikka akabugo ku kitaawe mu 1969 nga Sir Edward Muteesa akisizza omukono.

Embaga yaliko abantu 700 abaali abangi ennyo mu kiseera ekyo. Abagole baawummulirako mu lubiri e Baamunaanika, oluvannyuma ne bakomawo e Mmengo okutandika okukakkalabya emirimu emitongole.

Muteesa agamba nti waayitawo emyaka mitono ne kirabika nti obufumbo bwabwe tebugenda kuwangaala. Omusango agamba nti baagugabana n’omuzaana we wadde ng’omulabirizi Stuart yafuba nnyo okubabuulirira n’okubatabaganya. Nti kyokka bambi teyalwaawo n’agenda mu 1952 n’asikirwa omusumba Brown eyasinga okuba mukwano gwa Nabagereka.

Ate ne mukwano gwabwe Gavana Hall naye n’awummula mu mwaka gwe gumu n’asikirwa Sir. Andrew Cohen. Ono tebaakwatagana era n’amuwang’angusa mu 1953. Wabula oluvannyuma Nabagereka yakkirizibwa n’amukyalirako mu buwanganguse, kyokka teyalwaayo n’addayo mu lubiri empewo n’emufuuyira omwo bw’omu.

Y’asiibanga mu lubugo okutuusa lwe nannadda n’abeerera ddala eky’okulabirako eri abakazi abaali batandiikiriza ebyobufuzi. Yayogerwangako nga Muky. Muteesa mu kifo kya Nabagereka (olw’okuba Cohen yali agamba nti yaggya ku Muteesa obwakabaka).

Mu 1998 ensasagge bwe yagwa mu bwakabaka nga mu bambejja n’abalangira babityebeka nti Mutebi si mwana wa Muteesa, nti kubanga bwe babalirira Sarah we yafunira olubuto Muteesa yali akyali mu buwang’anguse. Olukiiko lwayitibwa ne lutuula bukubirire mu Bulange, eyali omulamuzi wa Buganda John Katende n’aggyayo ebifaananyi ebyali biraga Muteesa bali ne  Sarah e Bufalansa, era Katende n’ategeeza Olukiiko nti mu kiseera ekyo omuzaana Kabejja we yafunira olubuto.

Newankubadde Nabagereka teyavaayo kubaako ky’ayogera mu lujjudde, kyokka muwala we omumbejja Dorothy Nassolo yavaayo n’ategeeza nti bassengabe abaali boogerera mwannyina nti si mwana wa mwannyinaabwe, ate be bamu be baayogereranga mwannyinaabwe Sir Edward Muteesa ll nti teyali mwana wa Ssekabaka Daudi Chwa ll.

Muteesa era atunyumiza nti kawenkene Obote bwe yalumba olubiri mu kiro ekyakeesa olwa May 24 1966, oluvannyuma lw’okusindogoma kw’emmundu n’okuwaanyisiganya kw’amasasi, yalaba bakyala be Damali ne Sarah nga basajja ba Obote babasimbisizza olw’akasota babatutte e Luzira.

Yalese abaana babiri, Omulangira Henry Katabaazi Kalemeera, makanika w’ennyonyi mu San Francisco mu Amerika, ne Dorothy Nassolo, omuwandiisi omuto mu minisitule y’ensonga ez’omunda.

 

Lady Damali Kisosonkole

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa