TOP

Okutendeka ttiimu eyo sikyakirabamu makulu - Matia Lule

By Musasi Wa

Added 28th December 2011

ABAKUNGU ba KCC FC, babadde bakyawoza gwa mbuzi kulinnya nju, embwa n’enywa ku luseke!

Bya Basasi Baffe

ABAKUNGU ba KCC FC, babadde bakyawoza gwa mbuzi kulinnya nju, embwa n’enywa ku luseke!

Nga bakyatuula obufoofofo olw’omutindo gwa ttiimu ogw’ekibogwe, omutendesi Sam Ssimbwa abadde atunuuliddwa okusikira Matia Lule eyawummuzibwa, abawanvuyizza.

Ssimbwa n’abakungu ba KCC beevumbye akafubo ku Lwomukaaga ne bakkaanya ku bukwakkulizo bw’okudda mu KCC wabula ensonda mu Express zaategeezezza nti nabo si beetegefu kumuta olw’omutindo ttiimu gw’eriko era bamusuubizza endagaano ensava. Express y’ekulembedde liigi ku bubonero 27.

“Aba KCC nabawadde bye nneetaaga ne twawukana era baagenze kwerowooza naye nze nkyali musanyufu mu Express,” Ssimbwa bwe yategeezezza.

Matia Lule takomawo: Ekibonerezo ky’emyezi ebiri aba KCC kye baawa Matia Lule (ku kkono), kiggwaako wiiki ejja kyokka yategeezezza nga bw’atali mwetegefu kuddamu kugitendeka.

“Tekikyakola makulu kubeera mu mitambo gya ttiimu eyo mu kiseera kino kuba enkambi bagitabuddetabudde nga si kyangu kugizza ngulu,” Lule bwe yategeezezza.

KCC yawummuza Lule n’omumyuka we Baker Mbowa banoonyerezebweko ku bigambibwa nti baakuma mu bazannyi omuliro okwediima olw’obutasasulwa misaala gyabwe.

KCC ekubiddwa emipiira ebiri egiddiring’ana (Maroons ne Proline) ekyatanudde abakungu okunoonya omutendesi omuggya nti Morley Byekwaso agikonya.  

 

 

Okutendeka ttiimu eyo sikyakirabamu makulu - Matia Lule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte