TOP

Omusaala gwa Beckham gutabudde bannabyabufuzi e Bufalansa

By Musasi Wa

Added 29th December 2011

OMUSAALA omusava PSG gw'etegeka okuwa David Beckham buli mwezi, gutabudde ababaka ba palamenti ya Bufalansa era bategeka kussaawo mateeka ku kkomo ly'ensimbi ezisasulwa abazannyi.

2011 12largeimg229 dec 2011 112013120 703x422

OMUSAALA omusava PSG gw'etegeka okuwa David Beckham buli mwezi, gutabudde ababaka ba palamenti ya Bufalansa era bategeka kussaawo mateeka ku kkomo ly'ensimbi ezisasulwa abazannyi.

Beckham, 36, omuzannyi w'omupiira asinza ettutumu, ayolekedde okwegatta ku PSG mu January ng'endagaano ye eweddeko mu LA Galaxy eya Amerika nga December 31.

PSG ekulirwa nnaggagga Omuwalabu Nasser Al-Khelaïfi owa kkampuni y'amafuta ne ggaasi emanyiddwa nga Qatar Investment Authority.

EBIRI MU NDAGAANO YA BECKHAM NE PSG:

Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olwa Le Parisien, aba PSG baatuuse ku nzikiriziganya ne Beckham n'aweebwa endagaano ya mwaka gumu n'ekitundu nga buli mwezi bamusasula pawundi 700,000 (eza Uganda obuwumbi 2 n'obukadde 800).

Okusinziira ku lupapula luno, Beckham waakuweebwa enju galikwoleka era kiraabu yaakusasuliranga batabani be abasatu ebisale by'essomero mu ssomero ery'ebbeeyi.

Jean-Marc Ayrault, omubaka wa palamenti ow'ekibiina Socialist Party, eky'oluuyi oluvuganya gavumenti, yategeezezza nga bwe bagenda okuleeta ekiteeso ekikugira kiraabu okusasulanga abazannyi ensimbi ennyingi.

BECKHAM BAMULANGIDDE OBWANNAMUKADDE?

Omubaka omulala, Jean-Christophe Cambadelis yalangidde Beckham nga bw'awedde ku mpagala n'agattako nti, "Omukadde bw'atyo lwaki asasulwa obuwanana nga waliwo n'abantu abatasobola kusasula za bupangisa mu kibuga Paris!" 

Ye Eva Joly nga naye mubaka wa palamenti, yagambye nti ekitutte Beckham e Paris kutunda mijoozi si mupiira.

Kigambibwa nti muka Beckham, Victoria, 37, atuzza ya luk-ugunyu kuba guno mukisa munene gw'a-fu-nye okutumbula bizinensi ye ey'emisono.

Omusaala gwa Beckham gutabudde bannabyabufuzi e Bufalansa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...