TOP

Golola atunze ensambaggere

By Musasi Wa

Added 29th December 2011

ABAWAGIZI batono nnyo abaali bamanyi nti ensambaggere muzannyo oguyinza okukung’aanya enkuyanja y’abawagizi mu myaka egiyise.

2011 12largeimg229 dec 2011 115207860 703x422

Bya Hamid Kalanzi

ABAWAGIZI batono nnyo abaali bamanyi nti ensambaggere muzannyo oguyinza okukung’aanya enkuyanja y’abawagizi mu myaka egiyise. 

Omwaka 2011, guzuukusizza omuzannyo guno era bangi ku bazannyi baagwo ne bakukunukayo nga baagala okugwenyigiramu.

Teri mulala akutte mumuli gwa kutunda muzannyo gwa nsambaggere okuggyako Moses Golola era omwaka we guggweereddeko ng’erinnya lye litunda okukira keeki eyokya. Ekivudde mu ekyo, ze kkampuni ennene okutandika okumwettanira azikubire obulango nga n’abamu ku bantu ssekinnoomu batandise okwepaatiikako erya ‘Golola’. 

Golola ajja ku maapu:

Olunaku Golola lwe yakuba Abdul Kadri enzaalwa ya Sudan mu lulwana olwali ku wooteeri Africana, abawagizi b’omuzannyo gw’ensambaggere lwe batwala ng’amazaalibwa g’omuzannyo guno. 

Zaali ennwaana ssatu zokka, Golola ze yatwala okukubiramu Kadri n’awangula omusipi gwa East And Central Africa. Kino kyazuukusa bangi abaali batamanyi nti ensambaggere muzannyo olw’abawagizi abeeyiwa ku Africana. Abensambaggere abaali batamanyiddwa, ettutumu, lye yafuna kwolwo, lyabakwasa ensaalwa ne bagamba nti Golola abuuse amadaala, “Alwana atya n’Omugwira nga ffe atulese wano,” abamu ku bazannyi b’ensambaggere bwe baagamba.

Mu kubaanukula, Golola yabagamba nti, “Nze ndi ‘intanasono’. Sirwana na bakubi ba butayimbwa. Mumale kutuuka ku ddaala lyange olwo mumpite nnwaane nammwe.”

Kiki ekitunze Golola?:

Abamu bagamba nti Golola teyeetaaga kitunzi. Bw’atandika okwogera toyinza butaseka oba okwewuunya omuvubuka embulakalevu kafulu mu kusengeka n’okulonda ebigambo ebinyuvu.

Ebimu ku bigambo bya Golola:

1. Omubiri gwange gukaluba nga lwazi. 

2. Nze n’ensiri zintya, buli lwe zindaba nga zidduka.

3. Nze nsobola okutunuulira omukazi n’afuna olubuto.

4. Ng’enda kukuba Omuzungu addugale.

5. Golola naye atya Golola

Malik Kaliisa ne Titus Tugume:

Bombi baali baasuumuusibwa okuzannya ogw’ensimbi. Balina okuttunka bombiriri ng’awangula y’alina okuttunka ne Golola. Tugume yakuba Kaliisa n’amu-leka mu kkubiro.  Oluvannyuma lw’okumegga Kaliisa, Tugume yakangaza nti, “Golola y’addako.”  Wabula Golola yamuddamu nti, “Sirwana na basombi ba musenyu.”

Nsubuga Busungu:

Busungu naye muzannyi wa nsambaggere azze ku maapu omwaka guno. Okufaananako Kaliisa ne Tugume, naye yasaba alwane ne Golola wabula tekyasoboka. Yategeka olulwana ne munne Kikonwa olwali ku Eden Service Park e Bwaise. Ebyavaayo byali bya buvuyo era Kikonwa yagenda agamba nti ye muwanguzi wadde nga Busungu ye yalangirirwa.

Golola attunka ne Andras Nagy:

Buli omu yeesunga okulaba Golola bw’aggunda Omuzungu amuleke mu kkubiro. Olulwana olwali ku Africana nga December  9, lwasomboola abantu okuva e Bule n’e Bweya bawagire munnaabwe.  Kigambibwa nti lwassaawo likodi y’abantu abangi abakyasinze okuba mu kifo kino. 

Ng’omuzannyo gugenda mu maaso, obuvuyo bwatandika okweyoleka. Nagy enzaalwa y’e Hungary, yatandika na kukola bukolomooni kumbe ayoola bubonero. Musajjawattu Golola ye yali mu miguwa ng’alaba munne bwe yeemooola nga tamanyi nti afiirwa bubonero.

Ng’omuzannyo gugenda mu maaso, abawagizi ba Golola baatandika okukkiriza nti Nagy teyali mupange ng’abangi bwe baali babisaza ne kisiimuulawo n’eby’abaamubika nti yali yafa dda. 

Ku nkomerero, engaba y’obubonero teyategeerekeka era eyali kalabaalaba w’omukolo, Roger Mugisha yalangirira Golola ku buwanguzi ate ddiifiri Fritz Exertenburg n’amusikako empapula n’alangirira Nagy. Golola yasigaza omusipi kyokka tewali yamanya muwanguzi mutuufu.

Ssente za Golola zibula:

Oluvannyuma lw’olulwana, ebyaddirira lwali lutalo lwa ssente wakati wa Golola ne kitunzi we Patrick Kanyomozi. Endagaano bombi gye baakola yalema bangi okutegeera. 

Entalo zino, tezaakoma awo wabula zaatuuka n’ewa minisita Charles Bakkabulindi. Ekyaddirira, kyali kya Golola kugoba Kanyomozi ku bwakitunzi. 

Byonna ebyaliwo, abawagizi ba Golola baabissa ku bbali era bakyamutwala ng’omuzira waabwe.

ghj

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lindako1 220x290

Abaafeze omusuubuzi w’e South Afrika...

ABASAJJA basatu abagambibwa okubeera mu kabinja k’abafere ba zzaabu mu Kampala, abaafera omusuubuzi w’e South Afrika...

Muserikale 220x290

Omuserikale wa poliisi gwe baakutte...

EDDOBOOZI lya Gideon Mbirire eryesembyeyo okuwulirwa lyabadde nti ‘temunzita eby’emmundu sibimanyi’. Kyokka bakira...

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...