TOP

Enkonge ezizze zeekiika mu kkubo lyagwo

By Musasi Wa

Added 12th January 2012

KU lwamukaaga, ttiimu ya Uganda ey’omupiira gw’abakazi (Crested Crane) lw’ekyaza DR Congo mu kisaawe e Nakivubo mu luzannya olusooka mu z’okusu-nsulamu abaneetaba mu mpaka za Afrika omwaka ogujja kyokka abawagizi.

2012 1largeimg212 jan 2012 185031363 703x422

Bya Silvano Kibuuka ne Steven Mayamba      

KU lwamukaaga, ttiimu ya Uganda ey’omupiira gw’abakazi (Crested Crane) lw’ekyaza DR Congo mu kisaawe e Nakivubo mu luzannya olusooka mu z’okusu-nsulamu abaneetaba mu mpaka za Afrika omwaka ogujja kyokka abawagizi. Tukuleetedde gyenvudde w’omupiira guno n’emisanvu gye guzze gusanga.

Omupiira guno gutambula kasoobo ssaako ‘gusirika’ ku bukulembeze bwa FUFA obutali bumu. Kizibu okumanya nti Crested Cranes (eyali She Kobs) yasambako mu mpaka za Afrika ez’akamalirizo mu 2001 ezaali mu Johannesburg  mu South Africa ssaako ez’okusunsulamu eza World Cup mu 2000. Ebimu ku bizibu byagwo:

Bannayuganda tuluddewo okutegeera nti omupiira gw’abakyala  gulimu ekyama era nti guzannyibwa abazannyi ne bafunamu ensimbi. Abamu ku bawala abazze baguzannyi, babadde bakikola kwesanyusaamu busanyusa.

Omutendesi Paul Ssali omu ku babadde baguddukanya agamba nti waaliwo akabinja k’abakyala abaali abawagizi ba ttiimu za supa ennene (Villa, Express ne KCC) be baatandika okuvuganya wakati waabwe ng’omu-genzi Maama Baker Kazibwe eyali omuwagizi wa Express y’abawomyemu omutwe.

“Twali n’omutendesi Jackson Ndawula n’omugenzi Maama Baker Kazibwe ne tulaba ebitone mu bakyala abawagizi, abaali bavuganya okuviira ddala eyo mu 1993. Twawulira nti e Kenya bavuganya kwe kulonda ttiimu ne tubakyalira era olwadda ne tutandikawo liigi y’abakyala mu 1994”,  Ssali bwe yategeezezza.

Obwavu: Ssali agamba nti baakola liigi ya ttiimu 17 omwali ez’e Mbale, Kampala, Jinja, Lugazi ne Mukono wabula  ssente nga tewali zisobola kuddukanya liigi eno. Ttiimu tezaalinanga  ntambula, okukyaliragana ne kulemesa liigi okugenda mu maaso.

Obutafaayo bw’abakulembeze:

Ssali agamba nti, “Mu 1999, eyali Pulezidenti wa FUFA, Twaha Kakaire yansaba ntendeke ttiimu eyasamba ogw’okusunsulamu mu za Afrika ne Misiri nga nayo yali etandika butandisi omupiira guno”,  Uganda yalemagana (1-1) ne Misiri e Cairo, ng’erina kulemagana wano okuzannya eza  Afrika kyokka n’ewangulwa 1-0 e Nakivubo era awo we byakoma.

Mu 2001, Uganda yayitiramu ku mukeeka, DR Congo bw’etajja mu gw’okusunsulamu n’egenda e South Afrika okuzannya mu za Afrikaa kyokka n’etava mu kibinja.

Abazadde tebaagala bawala baabwe kuguzannya:  Okuva edda, abazadde bangi baali tebakkiriza bawala baabwe kusamba mupiira nga bakitwala nti, “Kivve abawala okzannya omupiira.”Tekikomye awo wabula ne naku zino, bangi ku bo bakyakitwala mu mbeera eyo.

Florence Bagunywa Nkalubo eyali akulira omupiira gw’abakazi ku FUFA agamba nti, “Baatandikawo omupiira guno mu masomero ne gawera 140 agagusamba mu ggwanga lyonna wabula FUFA n’etaguteekamu ssente zimala.” Agamba nti yanakuwala nnyo nga Uganda eggyeemu Rwanda mu 2010 kyokka n’ebulwa ensimbi okukyalira Zambia gye yali ebuzaayo okuyitamu.

Omutendesi wa Crested Cranes, Majida Nantanda nga yasooka kubeera musambi agamba nti ttiimu yagiyingira mu 1998 kyokka abatendesi ne bamuleka  ku lugendo lw’e Kenya nga bagamba nti muto.

Obutabeera na bakyala batendesi ssaako abakugu mu mupiira guno nayo nkonge kuba abazadde abamu batya okuwaayo  bawala baabwe eri abatendesi abasajja. Ayongerako nti abasajja bangi balemesezza abawala abasamba obulungi nga babakwana ne kibaggya ku mulamwa.

Wabula Nantanda agamba nti emiziziko mu mupiira gw’abakyala kati zoolekedde okuvvuunukibwa oluvannyuma lwa FUFA okweyama okukozesa ssente za FIFA ne CAF okugwongeramu amaanyi.

Agamba nti CAF era etendese abakyala nga ye okulondoola omupiira gw’abakazi mu Uganda era agenda kukikola mu ngeri ey’ekikugu. Wabula agamba nti omuziziko ogusigadde gwa kugwagazisa bantu wadde ng’amu ku bo batandise okugutwala ng’omukulu.

Abawagizi bye boogera

Grace Nakayiwa: Abaddukanya omupiira gw’abakazi bakyalina omulimu munene okugumanyisa abantu ssaako okugwagazisa Bannayuganda kuba bangi tebamanyi na linnya lya ttiimu ya ggwanga.

Deo Ssentongo: Abantu basinga kumanya Cranes ya basajja kuba erangibwa bulungi n’emanyisibwa abantu. Ttiimu y’abakazi batono abagimanyi era  sijja kwewuunya nga batono abagulabye.

Badru Lusambya: Omupiira gw’abakyala gusaana kwongeramu maanyi naddala okubatendeka. Bakoze kinene naye basaana kwongeramu baleme kwetegekera mupiira gwe bagenda kuzannya gwokka.

Ronald Kyagaba: Omupiira gw’abakyala gunyuma. Bwe nnalaba World Cup y’abakyala ewedde, amawanga nga Brazil, ne Girimaani we nnalabira nti gaatuleka dda. Tusaana kwongeramu maanyi.

 

 

Enkonge ezizze zeekiika mu kkubo lyagwo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte