TOP

Aba Express n’owa Villa bazize okutendekebwa

By Musasi Wa

Added 19th January 2012

NG’OKUTANDIKA kwa liigi okw’oluzannya olwokubiri, okw’enkya (Lwakutaano) kukyali mu lusuubo olw’endooliito za FUFA ne USL, Express ne SC Villa zikyalemeddwa okutereeza enkambi zaazo.

2012 1largeimg219 jan 2012 110144900 703x422

Bya Basasi Baffe

NG’OKUTANDIKA kwa liigi okw’oluzannya olwokubiri, okw’enkya (Lwakutaano) kukyali mu lusuubo olw’endooliito za FUFA ne USL, Express ne SC Villa zikyalemeddwa okutereeza enkambi zaazo.

Express FC eri mu kattu olw’abazannyi baayo abalala babiri abatiisizza okugyabulira singa tebaweebwa ndagaano.
Abawuwuttanyi  Godfrey Sentongo ne Ibrahim  Jjingo bawezezza ennaku munaana nga tebajja mu kutendekebwa kwa ttiimu e Kanyanya lwa kulwawo kubawa ndagaano.

Manejja wa Express, Mahamood Kateregga yagamba nti kikyamu abazannyi obutajja mu kutendekebwa ate n’amasimu gaabwe ne bagaggyako. “Olwo kati tunaateesaganya nabo tutya nga batwewala?,” bwe yabuuzizza.
Edgar Luzige, naye omuwuwuttanyi, ye yasoose okwabulira Express ne yeesogga Bunnamwaya ku ntandikwa y’omwaka guno.

Mu ngeri y’emu, kapiteeni wa SC Villa, Denis Guma, akyagaanyi okweyanjula mu kutendekebwa okuva nga January 3.
Guma yatabuka n’omutendesi Mike Mutebi ng’entabwe eva ku muzannyi kutegeeza nti ‘sisitiimu’ empya gye yaleeta (Mutebi) bw’eteyinza kubbulula ttiimu. Yasuulibwa ku mupiira gwa UTODA kyokka Villa n’eguwangula ggoolo 3-0.

Guma ayagala Villa emute anoonye ttiimu endala kyokka maneja Peter Nsaba n’akulira ebyekikugu, Joseph Kanaaba, baagambye nti akyali muzannyi waabwe era tebalina nteekateeka ya kumuta.

Aba Express n’owa Villa bazize okutendekebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’