TOP

Ekibonerezo kya FUFA kyasusse obunene ku Kabenge

By Musasi Wa

Added 19th January 2012

ABAGANDA bagamba nti, “Azaala ekibi akiwongerera” era nti, “Akuba owuwe akuba awumba engalo...!” Ntandise bwentyo olw’akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa akaavuddeyo ne kakaliga ssentebe w’akakiiko akaddukanya liigi (USL), Julius Kavuma Kabenge, emyaka 11 olw’okukanyooma bwe kaamutyise n’atagendayo

ABAGANDA bagamba nti, “Azaala ekibi akiwongerera” era nti, “Akuba owuwe akuba awumba engalo...!”
Ntandise bwentyo olw’akakiiko ka FUFA akakwasisa empisa akaavuddeyo ne kakaliga ssentebe w’akakiiko akaddukanya liigi (USL), Julius Kavuma Kabenge, emyaka 11 olw’okukanyooma bwe kaamutyise n’atagendayo, okukyusakyusa mu biwandiiko n’ebirala.

Yabadde nsobi ya maanyi Kabenge okujeemera akakiiko ako kubanga ne Pulezidenti Museveni bw’ayitibwa mu bukiiko bwa Palamenti obwenjawulo tajeema.

Tekitegeeza nti bw’agenda mu bukiiko bwe butyo ekitiibwa kye n’obuyinza bimuggyibwako wabula kyongera kulaga nti by’akola abitegeera n’olwekyo Kabenge yatomedde.

Engeri Kabenge gy’ali omusajja ow’omupiira, nange nandyegasse kw’abo abandimuwolerezza mu FUFA okukendeezebwa ku kibonerezo kubanga nze ku lwange ow’omupiira ssaagala bamukalige ng’atali waagwo.

Kati okujjulira kwa Kabenge mu FUFA oba mu kakiiko konna aka FUFA kuyinza obutamuyamba singa aba ajulidde kuba avudde wansi ng’anyooma nga kiba kizibu okuddiramu omuntu atalaba nsobi ze ate nga munyoomi nnamige.

Kye nsaba FUFA kyokka kiri kimu nti engeri Kabenge gy’ali omusajja ow’omupiira, bamukendeereze ku kibonerezo kubanga ng’oggyeeko ebibi bye, y’omu ku bawaniridde kiraabu ya Express okubeera w’eri.

Be sigenda kusonyiwa mu mupiira be bakungu ba SOS ababiri kuba bo ensimbi zibasingira omupiira ate owookusatu abuzaabuzibwa banne sso nga ye alina ettofaali lye yaalitadde ku mupiira.

kateregaya@yahoo.com:0782077016/0703286309

Ekibonerezo kya FUFA kyasusse obunene ku Kabenge

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza