TOP

Liigi eddamu ku lwakutaano?

By Musasi Wa

Added 20th January 2012

OLUKIIKO lwa liigi olufuuzi lwawezze okuzannya emipiira gya liigi egibadde egy'okutandika olwaleero. okusinzira ku bbaluwa eyawerezeddwa omwogeezi wa FUFA Rogers Mulindwa, yakirambise bulungi nti teri kuzannya liigi okugyako nga aba USL bamaze okukola ebyo ebyabasabibwa FUFA ku ntandikwa ya sizoni

2012 1largeimg219 jan 2012 215755493 703x422

OLUKIIKO lwa liigi olufuuzi lwawezze okuzannya emipiira gya liigi egibadde egy'okutandika olwaleero. okusinzira ku bbaluwa eyawerezeddwa omwogeezi wa FUFA Rogers Mulindwa, yakirambise bulungi nti teri kuzannya liigi okugyako nga aba USL bamaze okukola ebyo ebyabasabibwa FUFA ku ntandikwa ya sizoni.

"Olukiiko lwa FUFA oluffuzi lusazewo okuwera liigi okutusa nga ensonga zonna ezitana kukolebwako ziterezebwa." ekiwandiiko bwekyagambye.

Ttiimu bwe zeetegese:

Wadde nga FUFA ne USLL bakyagugulana, ttiimu zonna  zeetegekera kuyingira bisaawe. Ng’oggyeeko ekyo, ttiimu ezenjawulo ziri mu keetalo nga zinoonya abazannyi abanaaziggumiza ssaako okugoba be ziteetaaga.

Agafa mu ttiimu:

KCC, ekyalira Express enkya e Wankulukuku nga  terina bazannyi  okuli; Mike Majwega (omukwasi wa ggoolo), Peterson Mugisha ne Dan Kirumira abaasaliddwaako. Mu kwenyweza, ereese omuteebi Andy Ssali, Martin Kivumbi, Mike Kasibante era ng’ekyali mu nteeseganya ne Erisa Sekisambu (Villa), Yusuf Juuko (Express), Gaddafi Kiwanuka ne Collins Abiriga

Express:

Ebadde n’omutindo omusuffu mu luzannya olusooka kyokka abazannyi baabwe obutabawa ndagaano, kivuddeko obuzibu era abamu empagiruwaga okuli; Edgar Luzige, Godfrey Ssentongo, Ibrahim Jingo bagyabulidde sso nga KCC nayo etokota Yusuf Juuko.

SC Villa:

Yasazeeko Edris Kaye, Emma Kalyowa, Teri Etumba, Cliff Lukanga ne Mathias Kigonya ate omutendesi Mike Mutebi aleese Miisi Katende, Charles Sempala sso nga bateeseganya ne Steven Bengo wamu ne Feni Moses okubakomyawo.

Bunnamwaya:

Baviiriddwaako Owen Kasule ne Mike Mutyaba ne bayingizaawo Edgar Luzige, Simon Serunkuuma ne Sadam Juma eyakomyewo abazannyire okuva ku bbanja e Vietnam.

 

 

Liigi eddamu ku lwakutaano?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’