TOP

Kagimu awangudde obwa pulezidenti wa FMU

By Musasi Wa

Added 22nd January 2012

NG’ABOOMUPIIRA bakyali mu ntalo, ate akanyoolagano akalala kabaluseewo mu bavuzi n’abakulira omuzannyo gwa mmotoka z’empaka mu ggwanga.

2012 1largeimg222 jan 2012 172342513 703x422

Bya Hamid Kalanzi

NG’ABOOMUPIIRA bakyali mu ntalo, ate akanyoolagano akalala kabaluseewo mu bavuzi n’abakulira omuzannyo gwa mmotoka z’empaka mu ggwanga.
 
Nga bwe kiri mu mupiira abakungu ba USL mwe baagalira Lawrence Mulindwa pulezidenti wa FUFA ave ku bukulembeze, n’abemmotoka baagala George Kagimu pulezidenti wa FMU ekibiina ekifuga omuzannyo gwa mmotoka mu ggwanga alekulire. Bamulanga kulemwa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe.
 
Mu ttabamiruka gwe baatuuzizza e Lugogo ku Lwomukaaga,  kyazuuliddwa nti ssemateeka okuddukanyizibwa omuzannyo guno tafaanagana. Kigambibwa nti waliwo ssemateeka wa mirundi esatu.
 
Kino kyatabudde abakiise ne batuuka n’okugoba munnamateeka Geoffrey Nsamba mu lukiiko n’asuulibwa ebweru.
 
Kino kyazze oluvannyuma lwa Nsamba okuwanika omukono ateese kyokka Kagimu n’amugaana ekyalesewo okusika omuguwa era poliisi n'eyitibwa Nsamba n’agonda n’afuluma.
 
FMU egoba Nsamba:
Okusinziira ku ssemateeka, buli kiraabu ya mmotoka eweereza abakiise musanvu era bano be balina obuyinza obulonda. Olw’okuba nti Nsamba mmemba mu Southern Motor Club teyateereddwa  ku bantu omusanvu, yabadde talina kutuula mu lukiiko.
 
“Mr. Nsamba tali ku bantu omusanvu abaasindikiddwa era tateekwa kutuula mu lukiiko,” Kagimu bwe yagambye. Yayongeddeko nti oba Nsamba alina ky’ayagala okwogera, akiwe omu ku bakiise ba kiraabu ye akyanjule mu lukiiko.
 
Wabula mu ssemateeka y’omu, mulimu akawaayiro akagamba nti ddereeva yenna nga mmemba mu kiraabu ate nga Munnayuganda, anakkirizibwanga okutuula mu lukiiko ateese era wano Nsamba we yasinzidde okujja mu lukiiko luno.
 
Nsamba ayogedde:
Okusinziira ku ssemateeka, nzikirizibwa okukiika. Ate nga munnamateeka era ddereva, nakizudde nti ssemateeka yakyusibwakyusibwa nga tulina kkopi za mirundi ebiri ezakyusibwa nga December 23, 1999 ng'oggyeeko kkopi eyasangibwawo. Wano we navudde okwebuuza omutuufu y’aluwa?
 
Nsamba agamba nti teyayagadde kugenda mu kkooti kuba omusango gwa ssemateeka munene wabula bwe kinaatuuka ewala, yandikirowozaako.
 
Uganda Rally Drivers Association (URDA) ebanja:
Ssaabawandiisi w'ekibiina kino, Nasser Mutebi agamba nti; FMU erina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo nga sizoni tennatandika era  bw’etaakikole, tetujja kwetaba mu mpaka zonna.
 
Erina okututeerawo okutendekebwa mu bintu ebyenjawulo kuba yafuna ensimbi ezimala okuva mu kibiina ekifuga mmotoka z'empaka mu nsi yonna ekya FIA. Ng’oggyeeko ekyo, obuuma obukozesebwa okubala obudde nabwo balina okubussaawo kuba bwagulwa buwanana.
 
Lwakataka ne Sebuguzi beeyawudde:
Baayawukana ku bannaabwe nga bagamba nti kyandiba nga tebafaanaganya bigendererwa na bavuzi balala. Lwakataka agamba nti; "Nga Kagimu ye pulezidenti, tetulina bwogerero era ebizibu byaffe tebigonjoddwa. 
FMU tevaayo kutuyamba okuggyako  okutunenya nga waliwo ensobi ekoleddwa."
 
Bakalabaalaba si bamativu:
Omu ku bakalabaalaba ba mmotoka z'empaka  ataayagadde kwatuukirizibwa mannya, yagambye nti; Tukola omulimu munene naye FMU etuyisa bubi. Tetusasulwa bulungi ate nga tetulina bwogerero.
Mu mpaka ezaatuumibwa 'the return of Ssemujju', baalemera empapula okwali obubonero bw'abavuzi nga bagamba nti bamala kusasulwa nsimbi zaabwe kyokka oluvannyuma ne baziwaayo.
 
Kagimu yeewozaako:
Kagimu eyaweereddwa ekisanja ekyokubiri nga tavuganyiziddwa, agamba:
"Bino byonna bya bwereere kuba mbadde nsisinkana baddeereva ne bawa ensonga zaabwe era bamanyi we bayimiridde. Ku ky’okutendekebwa, tutandise emisomo egyenjawulo okusomesa abali mu mmotoka z'empaka.
   
 
Jack Wavamunno awabudde:
Eyaliko pulezidenti wa FMU naye eyabadde mu ttabamiruka yagambye nti; Ekireese bino byonna, nsimbi kuba bangi ku bali mu muzannyo guno, bagwagalamu nsimbi.
Nsaba abavuzi n’abakulembeze beggyemu obuluvu bw’ensimbi omuzannyo gugende mu maaso.

 

 

 

Kagimu awangudde obwa pulezidenti wa FMU

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’