TOP

Steven Bengo Villa emuzzizza n’egoba Guma

By Musasi Wa

Added 24th January 2012

NGA SC Villa ekyanoonya engeri gy’ekomawo ku maapu, ekomezzaawo eyaliko emmunyeenye yaayo Steven Bengo.

2012 1largeimg224 jan 2012 124539587 703x422

Bya H. SSONKO NE H. BUKENYA

NGA SC Villa ekyanoonya engeri gy’ekomawo ku maapu, ekomezzaawo eyaliko emmunyeenye yaayo Steven Bengo.

Yeegasse ku Villa mu butongole eggulo n’atendekebwa ne banne ku Villa Park oluvannyuma lwa URA FC mw’abadde azannyira okutuuka ku nzikirizikiganya ku nsimbi ezitaategeerekesemuwendo.

Bengo azannyidde Villa okuva lwe yava mu Jogoo Young (Villa ento) nga tanneegatta ku Yanga FC eya Tanzania 2009.Yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri era y’asuubirwa okufuuka nnamuziga wa ttiimu okutandika n’omupiira Villa gw’enettunkira ne URA (ababadde bakama ba Bengo) mu liigi ku Lwokutaano.

“Bengo ng’omuzannyi, Villa agyagala ng’omuntu era bwe twamutuukiridde, teyatukaluubirizza,” Akulira ebyekikugu mu Villa,
Joseph Kanaaba bwe yategeezezza.

Mu ngeri y’emu, Villa etunze abadde kapiteeni waayo Denis Guma mu SC Victoria University eya Big League. Guma eyava mu ttiimu ya Ntebe Red Cross FC mu 2008, yafuna obutakkaanya n’omutendesi Mike Mutebi ne yeerema n’okuddamu okutendekebwa ne banne.

“Ebyaffe ne Guma byawedde era kati muzannyi wa Victoria University. Tubadde tetukyasobola muzannyi awa mutendesi biragiro,” maneja wa Villa Peter Nsaba bwe yagambye.

Villa eviiriddwaako abazannyi ab’amannya bana okuli; Emma Kalyoowa, Simon Sserunkuuma ne Idris Kaye abagambibwa nti
tebagiyambye ebbanga lye bagimazeemu.

Steven Bengo Villa emuzzizza n’egoba Guma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’