TOP

Mbidde atuuyanidde mu kaguli mu gwa SOS ne FUFA

By Musasi Wa

Added 24th January 2012

BANNAMATEEKA ba pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa basabye kkooti egobe omusango gw’okujingirira ebiwandiiko ogwamuggulwako Dennis Mbidde, ssentebe w’akabiina ka SOS (Save Our Soccer), nga bagamba nti talina buyinza kumuvunaana.

2012 1largeimg224 jan 2012 192849700 703x422

Bya Prossy Nanziri

BANNAMATEEKA ba pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa basabye kkooti egobe omusango gw’okujingirira ebiwandiiko ogwamuggulwako Dennis Mbidde, ssentebe w’akabiina ka SOS (Save Our Soccer), nga bagamba nti talina buyinza kumuvunaana.

Bannamateeka abaakulumbedwa Evans Ochieng, bategeezezza omulamuzi Sylivia Nabaggala owa kkooti ento ku Buganda Road nti Mbidde si mmemba wa FUFA wadde okuba omukiise mu lukiiko lwayo sso nga n’ekibiina mwe yayitira okuwaaba omusango guno nakyo tekiriiwo mu mateeka.

Mu ku musoya ebibuuzo ku by’avunaana Mulindwa, Edgar Watson ne looya wa FUFA, Muhammed Bazirengedde, nti baajingirira ssemateeka wa FUFA ne bayingizaamu obuwaayiro obutaalimu, Mbidde yabuliddwa obukakafu n’ategeeza kkooti nga bwe yabiggya ew’omuwandiisi w’amakampuni kyokka nga ne ku kino yabuliddwa obukakafu.

Ochieng agattako nti n’engeri omusango gye gwaleetebwamu nkyamu nga Mbidde yalina kusooka kufuna lukusa lwa mulamuzi oluvannyuma ne wabaawo okubuuliriza, ekintu ekitaakolebwa.

Bannamateeka ba SOS nga bakulirwa Mulema Mukasa baakalambidde nti omusango gwaleetebwa mu mateeka nti ne Mbidde gye yaggya by’ayogerako, baakubireeta mu bujulizi bwabwe. Omulamuzi waakuwa ensala ye nga February 3.

Mbidde atuuyanidde mu kaguli mu gwa SOS ne FUFA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’