TOP

Tewali akkirizibwa kunywera ssigala ku kisaawe

By Musasi Wa

Added 17th July 2012

OMUZANNYI bw’asaba ddiifiri afulume annywe ku ssigala mbu ennyonta emuttira mu kisaawe, amukkiriza?

OMUZANNYI bw’asaba ddiifiri afulume annywe ku ssigala mbu ennyonta emuttira mu kisaawe, amukkiriza?

Omuzannyi bw’adduka ennyo, omubiri gufulumya  amazzi mangi olw’okutuuyana ennyo. Kino kivaako omubiri okubanja amazzi guweweere.

Wabula omuzannyi ali ku kisaawe akkirizibwa okunywa ekintu kyonna bwe kiba nga tekitamiiza.

Mu mpaka za FIFA, ebyokunywa ebikkirizibwa abazannyi ku kisaawe, mazzi n’ebyo ebirala ebitatamiiza.

Wadde nga ttiimu ziyinza okuba nga zisasulirwa kkampuni ezisogola ebyokunywa ebitamiiza, tebasobola kubireeta ku kisaawe.Amazzi gettanyirwa kuba ge gasinga omugaso eri obulamu.

Abazannyi bakkirizibwa okuganywa ng’omupiira guyimiriddemu oba nga guwedde naye si mu kisaawe nga gugenda mu maaso. Ng’oggyeeko ekyo, galina kubeera mu bucupa obuli ku mutindo sso si ga mu buveera.

Mu ngeri y’emu, FIFA yawera ssigala mu bisaawe era ne kkampuni ezimukola, teyinza kuziwa lukusa kusasulira mpaka zonna. Etteeka lino likola ku buli muntu ayingira ekisaawe.

Ddiifiri bw’alaba omuzannyi anywera ssigala mu kisaawe,  ayimiriza omupiira n’amuwa kaadi eya kyenvu era ttiimu ye n’ekubwa ‘indirect free kick’.

Kyokka  ttiimu y’omunywi wa ssigala, bwe baba bagirumba, ddiifiri, tayimiriza mupiira wabula amuddira luvannyuma.


 

Tewali akkirizibwa kunywera ssigala ku kisaawe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata