TOP

Uganda yamalidde mu kya 34 mu gy’abato

By Musasi Wa

Added 17th July 2012

KU mawanga 180 ageetabye mu mpaka z’emisinde gya World Junior Championships mu Barcelona ekya Spain ezaakomekkereza ku Ssande, Uganda yamalidde mu kya 34 n’obubonero 10.

Bya TEDDY  NAKANJAKKO, Spain

KU mawanga 180 ageetabye mu mpaka z’emisinde gya World Junior Championships mu Barcelona ekya Spain ezaakomekkereza ku Ssande, Uganda yamalidde mu kya 34 n’obubonero 10.

Kiddiridde abaddusi ba Uganda bana ku bataano be yatwala, okumalira mu bifo ebisooka omunaana kwe baasinzidde okugaba obubonero. 

Munnayuganda Nannyondo abacamudde:

Omutindo omuddusi Winnie Nannyondo gwe yayolesezza mu mpaka z’abato mu Barcelona gwacamudde yunivasite n’amatendekero amalala ne gaagala gamukanse.

Wadde teyawangudde mudaali, omutendesi George Palanda yagambye nti waliwo abamwagala agende asome nga bw’adduka. Nannyondo asoma bya bifaananyi mu Kampala University.

Kipsiro ali bulungi:

Mu ngeri y’emu, kaweefube w’okwetegekera emizannyo gya Olympics egitandika ku nkomerero ya wiiki ejja, Moses Kipsiro amukutte bulungi. Yakutte kyakusatu mu mpaka za Diamond League e London mu gya mita 5000.

Uganda yamalidde mu kya 34 mu gy’abato

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.