TOP

URA ewera kufutiza ya Congo mu za CECAFA

By Musasi Wa

Added 17th July 2012

OLUVANNYUMA lw''okuwangula Ssimba ku Ssande mu mpaka za CECAFA Kagame Club Championship, omutendesi Alex Isabirye aweze nga bw''agenda okutimpula Vital Club mu gwa leero alinnye ku ntikko y''ekibinja A.

2012 7largeimg217 jul 2012 123217783 703x422

Bya HASFA SONKO, DAR ES SALAAM

Leero mu CECAFA Kagame club.

URA FC – Vital Club, ssaawa 8, ss9.

Ports Fc – Simba FC, ssaawa 10.

OLUVANNYUMA lw'omegga Ssimba FC ku Ssande mu mpaka za CECAFA Kagame Club Championship, omutendesi Alex Isabirye aweze nga bw'agenda okutimpula Vital Club mu gwa leero alinnye ku ntikko y'ekibinja A.

Nga baakamala okuwangula abategesi aba Simba FC ggoolo 2-0 ku Ssande ezaateebeddwa Ali Feni, Isabirye yategeezezza nti “Tubaddemu n’obuvune obutonotono naye bonna bateredde era mmaze okuwawula ttiimu tulyoke tufaafaagane n'aba Congo (Vital FC) kuba ttiimu zaayo tezibeera nnyangu.”

Isabirye ayongerako nti waakukola enkyukakyuka emu yokka ku ttiimu eyawangula Simba nga Augustine Nsumba agenda kutandika mu kya Said Kyeyune.

Abalala kuliko Y. Mugabi, S. Masaba, A. Munaaba, D. Walulya, S. Senkoomi, O. Agaba, O. Kasule, S. Kyeyune, Y. Lutimba, A. Feni ne R. Sentongo.

URA FC erina okukulembera ekibinja A okusobola okwewala okusinsikana APR FC emu ku ttiimu ezisinga obuzibu mu mpaka zino kuba y’erina emikisa emingi okukulembera ekibinja C. 

URA ewera kufutiza ya Congo mu za CECAFA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi