TOP

Abazannyi ba KCC abapya basuubizza abawagizi ekikopo

By Musasi Wa

Added 18th July 2012

NGA yaakamala okuteeka omukono ku ndagaano y’emyaka ebiri, Tony Odur aweze nga bw’agenda okuwangulira KCC FC ekikopo

2012 7largeimg218 jul 2012 075833347 703x422

Bya D. KIBANGA

NGA yaakamala okuteeka omukono ku ndagaano y’emyaka ebiri, eyali omuzannyi w’omwaka mu 2010, Tony Odur aweze nga bw’agenda okuwangulira KCC FC ekikopo addemu okufuna ettuttumu lye yalina mu myaka 5 egiyise.

Ku Mmande, KCC yakakasizza nga bwe yakansizza Yudah Mugalu ne Odur ku bukadde 37 nga ku zo Odur yatutteko 19 ate Mugalu 18.

“Nkyalina ggoolo mu magulu era nsuubira okwegatta kwange ku KCC kwakuyamba okuzzaawo erinnya lya KCC tuwangule n’ebikopo,” Odur bwe yategeezezza.

Odur yayongeddeko nti okuva kwe mu Bunnamwaya kwakumuyamba okufuna okuvuganya n’abazannyi abalala azimbe ekitone kye. “KCC y’abawagizi era buli muzannyi yandyagadde nnyo okubeegattako kuba teri muzannyi atanyumirwa kumukubira ku nduulu ku kisaawe.” Odur bwe yayongeddeko.

Mu sizoni ya 2009/2010, Odur ye yasinga banne okuteeba ggoolo mu liigi (20) era Bunnamwaya n’esitukira mu liigi.

Abazannyi ba KCC abapya basuubizza abawagizi ekikopo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata