TOP

Eyali kafulu wa Cranes agiwadde obukodyo ku Zambia: Erumbe

By Musasi Wa

Added 18th July 2012

BARNABAS Mwesiga eyaliko omuzannyi wa Cranes ate n’agitendekako wakati wa 1986 ne 1988, ategeezezza nti mugumu nti Cranes egenda kumegga Zambia eyitewo okuzannya mu za Afrika ez’akamalirizo omwaka ogujja (2013) e South Africa.

Bya HUSSEIN BUKENYA

BARNABAS Mwesiga eyaliko omuzannyi wa Cranes ate n’agitendekako wakati wa 1986 ne 1988, ategeezezza nti mugumu nti Cranes egenda kumegga Zambia eyitewo okuzannya mu za Afrika ez’akamalirizo omwaka ogujja (2013) e South Africa.

Mwesiga eyali mu ttiimu eyazannya Zambia mu 1975, ategeezezza nti, “Embeera eno bw’eti yaliwo mu 1975, Cranes mwe nnali bwe yasooka okukyalira Zambia ebyembi ne batuwangula (2-1). Wabula eyali omutendesi mu biseera ebyo, David Otti yatugumya era bwe twabakyaza e Nakivubo twabakuba ggoolo 3-0 ne tubawandulamu.”

Kw’olwo, Cranes yayitamu ne yeetaba mu za Afrika (1976) ezaali mu Ethiopia n’ewandukira ku luzannya olusooka mu mpaka ezaawangulwa Morocco.

Cranes ezannye eza afrika ezaakamalirizo enfunda 5 omuli eza; 1962 lwe yakwata ekyokuna, 1968, 1974 ne 1976 lwe yakoma ku luzannya olusooka ssaako eza 1978, lwe yakubwa Ghana (2-0) ku fayinolo, era nga Uganda z’ekyasembyeyo okwetabamu.
Mwesiga yagasseeko nti Zambia terina kya maanyi ky’esinza Uganda wabula beetegeka mangu nga kino Cranes ky’erina okukola.

Wabula yawadde omutendesi Bobby Williamson amagezi, afalaasire abazannyi be obutazannya na kiwuggwe kuba ekitone bakisinza abazannyi ba Zambia.

“Bobby atendeke omupiira ogw’okulumba kuba Zambia egenda kuba etya okuteebwamu omwayo ekitegeeza nti singa Cranes ebalumba, esobola okubakozesa ensombi,” Mwesiga bwe yagambye.

Yakikkaatirizza nti abazannyi tebalina kutya Zambia olw’okuba y’erina ekikopo, bakisse mu mitima gyabwe nti basobola okugimegga nga bwe gwali mu 1975.

Eyali kafulu wa Cranes agiwadde obukodyo ku Zambia: Erumbe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...