TOP

Kavuma aduumira Express

By Musasi Wa

Added 19th July 2012

WADDE nga nnakula ne bazadde bange bombi nasinga kubeera ne kitange eyanjagaliza okuba omusambi w’omupiira.

2012 7largeimg119 jul 2012 092106783 703x422

WADDE nga nnakula ne bazadde bange bombi (mmange Oliva Nakibuuka ne kitange George Ssemujju), nasinga kubeera ne kitange eyanjagaliza okuba omusambi w’omupiira. Nnazaalibwa mu 1988.

Okusoma kwange;

Nnasomera Bweyogerere Christian Academy, Our Lady of Consolata ne Bishop Senior Secondary School. MUBS gye nafunira dipulooma mu bya tekinologiya. Nnayagala nnyo okuba omusawo naye nga n’omupiira ngwagala. Ebyobusawo nnabisuula, essira ne ndissa ku mupiira.

Ntandika omupiira;

Nga nkyali mu pulayimale, natendekebwanga ne Bweyogerere FC era eno abaasambako nange batenda kitone kye nnalina. Eno gye nasookera n’okufunira layisinsi mu mupiira. Nasooka kukwata ggoolo wabula bwe nasambako mu maaso, ebintu ne bitambula bulungi era mu ggoolo ne nvaamu. Oluvannyuma, Fred Katende Malibu yampita nneegatte ku Canon FC e Mukono gye nazannyira okumala emyezi 6. 

Mu kiseera ekyo, omutendesi Sam Ssimbwa yali amaze okumatira ensamba yange era bwe yafuna omulimu mu Simba, yasaba taata antwale mu Simba. Bwe yava mu Simba, Simbwa yantwala mu KCC kuba naye gye yali alaze kyokka ate teyalwayo n’agenda e Kenya mu Sofapaka. Kyampisa bubi nnyo kuba nali nkyayagala okubeera naye. Nneegatta ku Express eyo Ssimbwa gye yasanze.

Willy Kyambadde ye yasinga okunjagaza omupiira era yakola kinene okunzigya mu kukwata ggoolo kuba nali njagala nzannye nga ye.

Ekikyasinze okunsanyusa n’okunnyiiza;

Obuwanguzi bwe twatuukako sizoni ewedde nga tuwangudde liigi nga nze kapiteeni wa Express. Nnali siwangulangako ku kikopo. Ekikyasinze okunnyiiza lwe lunaku lwe nalemwa okuyitamu mu kugezesebwa mu Oman nga mmenyekedde mu kutendekebwa. 

Ttiimu gye mpagira;

Mpagira KCC kuba Willy Kyambadde gye yali azannyira ate nga mumatira nnyo. E Bulaaya, ndi wa ManU ne Real Madrid. Apollo Kakaire abadde aguzannyira mu Villa sizoni ewedde, ye mukwano gwange asinga ate nga Roman Riquelme ye muzannyi mu Bulaaya yonna gwe nneegomba.

Omupiira gwe siryerabira;

Sizoni ewedde, twazannya Masaka ne tugikuba 1-0. Omupiira ogwo gwanteeka ku bunkenke kuba twali twakamala okuwangula emipiira ebiri egy’omuddiring’anwa ate nga tusemberedde ekikopo. Twalwawo okuteeba era obunkenke bwe twaliko bwali buzibu nnyo.

Okubeera kapiteeni kitegeeza kuba muwulize eri omutendesi, okuba n’obuvumu n’okugumira puleesa kuba abawagizi baagala buwanguzi bwokka. 

Kavuma aduumira Express

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’